Add parallel Print Page Options

(A)Ndikomyawo Yuda ne Isirayiri okubaggya mu buwambe era mbazimbe nga bwe baasooka okubeera.

Read full chapter

(A)Mumpulirize mujje gye ndi.
    Muwulirize mubeere balamu;
nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,
    era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.

Read full chapter

40 (A)Ndikola nabo endagaano eteriggwaawo: siribaleka era sirirekeraawo kubakolera birungi, era ndibassaamu omwoyo oguntya, baleme kuddayo kunvaako.

Read full chapter

(A)Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.

(B)Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri. (C)Kubanga bw’abanenya ayogera nti,

“Laba ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
    “ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri,
awamu n’ennyumba ya Yuda.
(D)Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe
    lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri.
Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange,
    nange ssaabassaako mwoyo,”
    bw’ayogera Mukama.
10 (E)“Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,
    oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe
    era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,
nange nnaabeeranga Katonda waabwe,
    nabo banaabeeranga bantu bange.

Read full chapter