Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
צ Tisade
137 (A)Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
era amateeka go matuufu.
138 (B)Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
era byesigibwa.
139 (C)Nnyiikadde nnyo munda yange,
olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 (D)Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
kyenva mbyagala.
141 (E)Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 (F)Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
amateeka go ge gansanyusa.
144 (G)Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.
Akabi eri Aboonoonyi
5 (A)Weewaawo, omwenge mulimba
guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako.
Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa.
Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta,
amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako
ne gugafuula abasibe.
6 (B)“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti,
“ ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye!
Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’
7 (C)Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,
era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza?
Oliba togudde mu mikono gyabwe?
8 (D)Kubanga onyaze amawanga mangi,
abantu abasigaddewo balikunyaga;
Oyiye omusaayi gw’abantu,
n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”
39 (A)Ne bamuddamu nti, “Kitaffe ye Ibulayimu.” Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu mwandikoze ebyo Ibulayimu bye yakola. 40 (B)Naye kaakano, Nze ababuulidde ebyo byennyini bye nawulira okuva eri Katonda musala amagezi okunzita. Ekifaanana ng’ekyo Ibulayimu teyakikola. 41 (C)Mukola emirimu gya kitammwe.”
Ne bamuddamu nti, “Ffe tetwazaalibwa mu bwenzi, Kitaffe gwe tulina ali omu, ye Katonda.”
42 (D)Yesu n’abagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe mwandinjagadde, kubanga nava gy’ali okujja gye muli, sajja ku bwange wabula ye yantuma. 43 Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temwagala kuwulira bigambo byange. 44 (E)Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe by’ayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bw’ayogera eby’obulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe w’abalimba. 45 (F)Naye kubanga njogera mazima kyemuva mutanzikiriza. 46 Ani mu mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima, kiki ekibagaana okunzikiriza? 47 (G)Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.