Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 (B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 (C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 (D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 (E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
12 (A)Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,
atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.
13 (B)Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye
nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro,
n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?
14 (C)Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.
15 Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza
n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira
asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
16 (D)Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.
Naawe olinywa n’oswala.
Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli,
n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
17 (E)Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,
n’okutta ensolo, birikutiisa.
Osse abantu
n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.
18 (F)“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?
Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye
nga akola ebifaananyi ebitayogera!
19 (G)Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’
Kino kisobola okuluŋŋamya?
Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,
so tekiriimu bulamu n’akatono.
20 (H)Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:
ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”
9 (A)Mbawandiikira nga mbalabula obutegattanga na benzi, 10 (B)so si okwewala abenzi ab’ensi eno, oba aboomululu, oba abakumpanya, oba abasinza bakatonda abalala, kubanga kyandibagwanidde mmwe okuva mu nsi. 11 (C)Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ng’ate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Ab’engeri eyo n’okulya temulyanga nabo.
12 (D)Kale nze nfaayo ki okusalira ab’ebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe? 13 (E)Naye ab’ebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.