Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 117

117 (A)Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
    mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
(B)Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
    n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.

Mutendereze Mukama.

Yeremiya 30:18-24

18 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo
    era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.
Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,
    n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.
19 (B)Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza
    era n’eddoboozi ery’okujaguza,
ndibaaza, era tebaliba batono,
    ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.
20 (C)Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,
    era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba.
    Ndibonereza bonna ababanyigiriza.
21 (D)Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;
    omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo.
Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange,
    kubanga ani oyo alyewaayo
    okunyiikira okubeera okumpi nange?’
    bw’ayogera Mukama.
22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,
    nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”

23 (E)Laba, omuyaga gwa Mukama
    gulikuntira mu kiruyi,
empewo ey’amaanyi
    eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
24 (F)Obusungu bwa Mukama obubuubuuka
    tebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizza
    ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezirijja,
    kino mulikitegeera.

Okubikkulirwa 22:8-21

(A)Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; (B)kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”

10 (C)Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira. 11 (D)Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.

12 (E)“Laba, nzija mangu nsasule buli omu ng’ebikolwa bye bwe biri. 13 (F)Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.

14 (G)“Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa obuyinza okuyingira mu miryango gy’ekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogw’obulamu. 15 (H)Ebweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba.

16 (I)“Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”

17 (J)Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.

18 (K)Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 19 (L)Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

20 (M)Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!”

Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!

21 (N)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.