Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Kaabakuuku 1:1-4

(A)Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.

Kaabakuuku yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya

(B)Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira
    naye nga tompuliriza?
Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,”
    naye n’otonnyamba?
(C)Lwaki ondaga obutali bwenkanya
    era lwaki ogumiikiriza obukyamu?
Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,
    empaka n’ennyombo byeyongede.
(D)Amateeka kyegavudde gatagonderwa
    era n’obwenkanya ne butakolebwa.
Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde,
    n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.

Kaabakuuku 2:1-4

Obulamu eri Abatuukirivu

(A)Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera
    ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu
nnindirire ky’aliŋŋamba,
    era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.

(B)Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,

“Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande.
    Kuwandiike bulungi
    ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
(C)Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
    Kwogera ku by’enkomerero
    ate si kwa bulimba.
Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,
    kujja kutuukirira, tekugya kulwa.

(D)“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,
    naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”

Zabbuli 119:137-144

צ Tisade

137 (A)Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
    era amateeka go matuufu.
138 (B)Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
    era byesigibwa.
139 (C)Nnyiikadde nnyo munda yange,
    olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 (D)Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
    kyenva mbyagala.
141 (E)Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 (F)Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
    n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
    amateeka go ge gansanyusa.
144 (G)Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
    onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.

2 Basessaloniika 1:1-4

(A)Nze Pawulo ne Sirwano[a] ne Timoseewo tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.

Okwebaza n’Okusaba

(C)Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu n’okwagalana kwammwe mwekka na mwekka, (D)ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olw’okugumiikiriza kwammwe n’okukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu n’okubonaabona bye mugumiikiriza.

2 Basessaloniika 1:11-12

11 (A)Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe. Abawe amaanyi mutuukirize ebirungi byonna bye mukola, na buli mulimu ogw’okukkiriza mu maanyi, 12 (B)erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke ligulumizibwe mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye, ng’ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.

Lukka 19:1-10

Zaakayo Omusolooza w’Omusolo

19 (A)Awo Yesu n’atuuka mu kibuga Yeriko, n’ayitamu. Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo. N’afuba okulaba Yesu, naye n’atasobola ng’ali mu kibiina ky’abantu kubanga yali mumpi. (B)Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ng’ayitawo.

Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.” Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu.

(C)Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.”

(D)Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”

(E)Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu. 10 (F)Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.