Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Lukka 1:68-79

68 (A)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
    kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (B)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
    mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (C)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
    n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (D)okulaga bajjajjaffe ekisa,
    n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73     (E)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (F)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
    tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75     (G)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.

76 (H)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
    kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (I)Okumanyisa abantu be obulokozi,
    obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (J)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
    Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (K)okwakira abo abatudde mu kizikiza
    ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”

Yeremiya 22:18-30

18 Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,

“Tebalimukungubagira;
    ‘Kikafuuwe, mukama wange!’
Kikafuuwe,
    obugagga bwe!
19 (A)Aliziikibwa
    nga bwe baziika endogoyi,
    akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”

20 (B)“Genda mu Lebanooni okaabe,
    leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.
Kaabira ku Abalimu,
    kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
21 (C)Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga
    naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’
Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,
    togonderanga ku ddoboozi lyange.
22 Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,
    n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.
Olwo okwatibwe ensonyi
    oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.
23 (D)Mmwe abali mu Lebanooni,[a]
    abesulira mu bizimbe eby’emivule,
nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!
    Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.

24 (E)“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. 25 (F)“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. 26 (G)Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. 27 Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”

28 (H)Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,
    ekimenyese, ekitaliiko ayagala?
Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,
    basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
29 (I)Ayi ggwe ensi, ensi,
    wulira ekigambo kya Katonda!
30 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako
    kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,
alituula ku ntebe ya Dawudi
    oba aliddayo okufuga mu Yuda.”

Lukka 18:15-17

Yesu n’Abaana Abato

15 Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta. 16 Naye Yesu abaana n’abayita, n’agamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be b’obwakabaka bwa Katonda. 17 (A)Ddala ddala mbagamba nti atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu n’akatono.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.