Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe
12 (A)Ku lunaku olwo oligamba nti,
“Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;
newaakubadde nga wansunguwalira,
obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
2 (B)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
era afuuse obulokozi bwange.”
3 (C)Munaasenanga n’essanyu amazzi
okuva mu nzizi ez’obulokozi.
4 (D)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,
“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
5 (E)Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
6 (F)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”
15 Tewali w’oyinza kusanga mazima,
era oyo ava ku kibi asuulibwa.
Mukama yakiraba n’atasanyuka
kubanga tewaali bwenkanya.
16 (A)N’alaba nga tewali muntu,
ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira.
Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini
okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula.
17 (B)Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba,
era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe;
n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga
era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro.
18 Ng’ebikolwa byabwe bwe biri
bwalisasula ekiruyi ku balabe be,
n’abamukyawa
alibawa empeera yaabwe,
n’abo abali ewala mu bizinga abasasule.
19 (C)Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba,
n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba,
kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi,
omukka gwa Mukama gwe gutwala.
20 (D)“Era Omununuzi alijja mu Sayuuni,
eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,”
bw’ayogera Mukama.
21 (E)“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.
Okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda
20 (A)Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu n’abaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja, 21 (B)era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”
22 (C)Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba. 23 (D)Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga. 24 (E)Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe, 25 (F)Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno.
26 (G)“Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. 27 Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.
28 (H)“Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, 29 okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.
30 (I)“Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako. 31 (J)Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo. 32 (K)Mujjukire mukazi wa Lutti! 33 (L)Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya. 34 Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa. 35 (M)Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa. 36 Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.”
37 (N)Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?”
Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensega[a] we zirikuŋŋaanira!”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.