Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ettabi Ettukuvu
23 (A)“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama. 2 (B)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama. 3 (C)“Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. 4 (D)Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.
68 (A)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (B)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (C)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (D)okulaga bajjajjaffe ekisa,
n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73 (E)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (F)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75 (G)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.
76 (H)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (I)Okumanyisa abantu be obulokozi,
obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (J)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (K)okwakira abo abatudde mu kizikiza
ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”
11 (A)Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, 12 (B)nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. 13 (C)Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14 atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.
Obulamu bwa Kristo
15 (D)Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. 16 (E)Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. 17 (F)Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa. 18 (G)Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna. 19 (H)Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye, 20 (I)era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.
33 Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono. 34 (A)Yesu n’agamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
35 (B)Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”
36 (C)N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, 37 (D)nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!”
38 (E)Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti,
Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.
39 (F)Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.” 40 Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? 41 (G)Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze.”
42 (H)N’alyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo.”
43 (I)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.