Add parallel Print Page Options

21 (A)Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo
    tebakyebuuza ku Mukama.
Noolwekyo tebakulaakulana
    era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.

Read full chapter

Abasumba n’Endiga

34 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga? (B)Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo. (C)Ennafu temuzizzaamu maanyi, so n’endwadde temuzijjanjabye, so n’ezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so n’ezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze n’amaanyi. (D)Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ez’omu nsiko. (E)Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.

“ ‘Noolwekyo mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama: Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, olw’endiga zange okufuuka omuyiggo, n’ekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era n’abasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange, kale mmwe abasumba muwulire ekigambo kya Mukama. 10 (F)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olw’ekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe.

Read full chapter

15 Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Twala nate ebintu eby’omusumba omusirusiru bye yandikozesezza. 16 Kubanga laba, nze nyimusizza omusumba mu nsi atafaayo ku ndiga ezizikirira era atanoonya zisaasaanye, era atayunga zimenyese wadde okuliisa ennamu, naye alya ensolo ensava ng’aziyuzaako ebinuulo.

17 (A)“ ‘Zimusanze omusumba wange ataliiko ky’agasa
    agayaalirira ekisibo!
Ekitala kifumite omukono gwe ogwa ddyo, kiggyemu n’eriiso lye erya ddyo!
    Omukono gwe gukalire ddala,
    n’eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!’ ”

Read full chapter

11 (A)Embwa ezirina omululu omuyitirivu
    ezitakkuta.
Basumba abatayinza kutegeera,
    bonna abakyamye mu makubo gaabwe;
    buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.

Read full chapter

31 (A)Mmwe ndiga zange, endiga ez’eddundiro lyange, muli bantu bange, era nze ndi Katonda wammwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Read full chapter