Add parallel Print Page Options

(A)“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga?

Read full chapter

(A)Ente emanya nannyini yo
    n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,
naye Isirayiri tammanyi,
    abantu bange tebantegeera.”

Read full chapter

17 (A)Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu.
    Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi
    naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.

Read full chapter

19 (A)Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba.

Read full chapter

11 (A)Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira,
    bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize,
    ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa.
Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti,
    Mukama tali naffe?
    Tewali kinaatutuukako.”

Read full chapter