Add parallel Print Page Options

(A)Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi;
    bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu,
    bakomawo n’ebintu ebikalu;
ensonyi nga zibakutte
    n’essuubi nga libaweddemu;
    babikka amaaso gaabwe.
(B)Ettaka lyatise
    kubanga enkuba tekyatonnya,
abalimi baweddemu amaanyi,
    babikka ku mitwe gyabwe.

Read full chapter

16 (A)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Walibeerawo okwaziirana mu nguudo
    n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga.
N’abalimi baliyitibwa, bakaabe,
    n’abakungubazi bakube ebiwoobe.

Read full chapter

11 (A)Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye,
    era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa,
tolibaako ky’okungula
    wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.

Read full chapter