Add parallel Print Page Options

Abantu bayitibwa Okwenenya

13 (A)Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.
    Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,
mweyale wansi awali ekyoto,
    musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,
kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,
    eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.

Read full chapter

12 (A)Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
    yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
    n’okwambala ebibukutu.

Read full chapter

10 (A)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
    era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
    n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
    era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.

Read full chapter