Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Asafu.
79 (A)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
ne kifuuka entuumo.
2 (B)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
3 (C)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
okwetooloola Yerusaalemi,
so nga abafudde tewali muntu abaziika.
4 (D)Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
14 (A)Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza?
Mukuŋŋaane.
Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe
tuzikiririre eyo.
Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire
era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe,
kubanga twonoonye mu maaso ge.
15 (B)Twasuubira mirembe
naye tewali bulungi bwajja;
twasuubira ekiseera eky’okuwonyezebwa
naye waaliwo ntiisa.
16 (C)Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.
Bajja okuzikiriza
ensi ne byonna ebigirimu,
ekibuga ne bonna abakibeeramu.
17 (D)“Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa,
amasalambwa g’otasobola kufuga,
emisota egyo girikuluma,”
bwayogera Mukama.
2 (A)Woowe singa mbadde n’ekisulo
ky’abatambuze mu ddungu,
nnandivudde ku bantu bange
ne mbaleka
kubanga bonna benzi,
bibiina by’abasajja ab’enkwe.
3 (B)“Bategeka olulimi lwabwe
ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
era tebammanyi,”
bw’ayogera Mukama.
4 (C)“Mwegendereze mikwano gyammwe
era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
5 Buli muntu alimba muliraanwa we
era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
6 (D)Mubeera wakati mu bulimba;
mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
7 (E)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa,
kiki ate kye nnaakolera abantu bange
kubanga boonoonye?
8 (F)Olulimi lwabwe kasaale akatta,
lwogera bya bulimba,
buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke,
naye mu mutima gwe ategeka kumutega.
9 (G)Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?”
bw’ayogera Mukama.
“Seesasuze ku ggwanga
eriri nga lino?”
10 (H)Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
era ne nkungubagira amalundiro ag’omu ddungu.
Galekeddwa awo era tegayitwamu,
n’okukaaba kw’ente tekuwulirwa.
Ebinyonyi eby’omu bbanga tebikyawulirwa
n’ensolo ez’omu nsiko zidduse.
11 (I)“Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
ekisulo ky’ebibe.
Era ndyonoona ebibuga bya Yuda
waleme kubaawo muntu yenna abeeramu.”
Ekirabo kya Nnamwandu
41 (A)Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.[a] 42 Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.[b]
43 Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika. 44 (B)Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.