Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 2

(A)Lwaki amawanga geegugunga
    n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
(B)Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
    n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
    ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
(C)“Ka tukutule enjegere zaabwe,
    era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”

(D)Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
    abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
(E)N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
    n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
    ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

(F)Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:

kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
    olwa leero nfuuse kitaawo.
(G)Nsaba,
    nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
    era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
(H)Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
    era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”

10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
    muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11 (I)Muweereze Mukama nga mumutya,
    era musanyuke n’okukankana.
12 (J)Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
    n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
    Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

Yeremiya 18:12-23

12 (A)Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”

13 (B)Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,

“Mwebuuzeeko mu mawanga.
    Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?
Muwala wange Isirayiri
    akoze ekintu eky’ekivve.
14 Omuzira oguli ku Lebanooni
    gwali guwedde ku njazi zaakwo?
Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala
    gaali galeseeyoko okukulukuta?
15 (C)Naye ate abantu bange banneerabidde,
    banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,
abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe
    era ne mu makubo ag’edda
era ne balaga mu bukubokubo.
16 (D)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
    ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
    era ne banyeenya emitwe gyabwe.
17 (E)Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe
    ng’empewo eva ebuvanjuba;
ndibalaga mabega
    so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”

18 (F)Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”

19 Ompulirize, Ayi Mukama,
    owulirize abampakanya kye bagamba.
20 (G)Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?
    Bansimidde obunnya.
Ojjukire nga nayimirira mu maaso go
    ne nkaaba ku lwabwe,
    nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
21 (H)Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,
    obaweeyo battibwe n’ekitala.
Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;
    abasajja baabwe battibwe;
    abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
22 (I)Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,
    bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo,
kubanga bansimidde ekinnya bankwate
    era bateze ebigere byange emitego.
23 (J)Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,
    bye bateesa banzite.
Tobasonyiwa byonoono byabwe
    wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.
Obawangulire ddala,
    era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.

1 Timoseewo 3:14-4:5

Ekyama Ekikulu

14 Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu; 15 (A)kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima. 16 (B)Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti:

“Yalabisibwa mu mubiri,
    n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde,
n’alabibwa bamalayika,
    n’alangibwa mu mawanga,
n’akkirizibwa mu nsi,
    era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”

Abayigiriza ab’Obulimba

(C)Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, n’enjigiriza ya baddayimooni, (D)nga bawubisibwa obukuusa bw’abantu abalimba, ab’emitima egiri ng’egyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde. (E)Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza. (F)Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza, kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, n’okukisabira.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.