Add parallel Print Page Options

Yuda Erumbibwa

(A)“Kirangirire mu Yuda
    era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,
‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!
    Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,
    tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’

Read full chapter

11 (A)Naye Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bwe yazinda ensi eno ne tugamba nti, ‘Tugende e Yerusaalemi tuwone eggye ery’Abakaludaaya n’ery’Abasuuli,’ kyetuvudde tubeera mu Yerusaalemi.”

Read full chapter

18 (A)Mukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi n’omu akyamizza omutima gwe okuva ku Mukama Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obw’engeri eyo obukaawa ng’omususa.

Read full chapter

15 (A)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa.

Read full chapter

15 (A)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti,

“Nzija kubaliisa emmere ekaawa
    banywe amazzi ag’obutwa,
kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi,
    obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”

Read full chapter

(A)Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama,
    baako ky’okola olw’erinnya lyo.
Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi,
    tukwonoonye nnyo.

Read full chapter

20 (A)Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe
    era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,
    kubanga ddala twayonoona gy’oli.

Read full chapter