Add parallel Print Page Options

(A)Mmwe abakazi abateefiirayo,
    mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;
mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,
    muwulire bye ŋŋamba.
10 (B)Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,
    mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,
amakungula g’emizabbibu galifa,
    n’amakungula g’ebibala tegalijja.
11 (C)Mutye mmwe abakazi abateefiirayo,
    mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.
Muggyeko engoye zammwe,
    mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12 (D)Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa,
    olw’emizabbibu egyabalanga,
13 (E)n’olw’ensi ey’abantu bange,
    ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.
Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,
    na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.

Read full chapter