Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 80:1-2

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.

80 (A)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
    ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
    (B)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[a]
    ojje otulokole.

Zabbuli 80:8-19

(A)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
    n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
    emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
    n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (B)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
    n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.

12 (C)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
    abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (D)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
    na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (E)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
    otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15     Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
    era ggwe weerondera omwana wo.

16 (F)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
    abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
    era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
    Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.

19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulyoke tulokolebwe.

Isaaya 3:18-4:6

18 (A)Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira, 19 ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso, 20 (B)ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato, 21 empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo, 22 engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo, 23 n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.

24 (C)Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu,
    awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa,
n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata,
    mu kifo ky’engoye babeere mu nziina,
    n’awaali obulungi waddewo obulambe.
25 (D)Abasajja bo balittibwa kitala,
    abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.
26 (E)N’enzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga
    era ekibuga kyennyini kiriba ng’omukazi alekeddwa obwereere ng’atudde mu ttaka.
(F)Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti,
    Tuyitibwenga erinnya lyo,
otuggyeko ekivume.
    Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala.

Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya

(G)Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. (H)Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. (I)Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. (J)Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. (K)Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.

Matayo 24:15-27

15 (A)“Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere, 16 n’abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi. 17 (B)Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu. 18 N’oyo alibeera mu nnimiro taddangayo eka okunonayo olugoye lwe. 19 (C)Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 20 Naye musabe ekiseera ky’okudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti. 21 (D)Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana. 22 (E)Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde n’omu alokolebwa. Naye olw’abalonde be ennaku ezo zirikendezebwako. 23 (F)Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga. 24 (G)Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda. 25 Laba mbalabudde nga bukyali!”

26 “Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga. 27 (H)Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.