Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Asafu.
50 (A)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
akoowoola ensi
okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
2 (B)Katonda ayakaayakana
ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
3 (C)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
4 (D)Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
azze okusalira abantu be omusango.
5 (E)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
6 (F)Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.
Eggwanga Ejjeemu
2 (A)Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi,
kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti,
“Nayonsa ne ndera abaana
naye ne banjeemera.
3 (B)Ente emanya nannyini yo
n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,
naye Isirayiri tammanyi,
abantu bange tebantegeera.”
4 (C)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
5 (D)Lwaki mweyongera okujeema?
Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
n’omutima gwonna gunafuye.
6 (E)Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe
temuli bulamu
wabula ebiwundu, n’okuzimba,
n’amabwa agatiiriika amasira
agatanyigibwanga, okusibibwa,
wadde okuteekebwako eddagala.
7 (F)Ensi yammwe esigadde matongo,
ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,
nga nammwe bennyini mulaba.
Bannamawanga[a] balidde ensi yammwe,
era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
8 (G)Omuwala wa Sayuuni alekeddwa
ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu,
ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu[b],
ng’ekibuga ekizingiziddwa.
9 (H)Singa Mukama ow’Eggye
teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
twandifuuse nga Ggomola.
21 (A)Laba ekibuga ekyesigwa
bwe kifuuse ng’omwenzi!
Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya!
Obutuukirivu bwatuulanga mu ye,
naye kaakano batemu bennyini nnyini!
22 Effeeza yo efuuse masengere,
wayini wo afuuse wa lujjulungu.
23 (B)Abafuzi bo bajeemu,
mikwano gya babbi,
bonna bawoomerwa enguzi,
era banoonya kuweebwa birabo;
tebayamba batalina ba kitaabwe,
so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
Obugagga obw’Amazima
19 (A)“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira. 20 (B)Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba. 21 (C)Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”
22 “Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ng’eky’omusana. 23 Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga n’ekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”
24 (D)“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.[a] ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.