Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Koseya 11:1-11

Okwagala kwa Katonda eri Isirayiri

11 (A)“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala,
    era namuyita okuva mu Misiri.
(B)Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri,
    nabo gye beeyongeranga okusemberayo
ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali,
    ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
(C)Nze nayigiriza Efulayimu okutambula,
    nga mbakwata ku mukono;
naye tebategeera
    nga nze nabawonya.
(D)Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu,
    n’ebisiba eby’okwagala.
Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe
    ne neetoowaza ne mbaliisa.

(E)“Tebaliddayo mu nsi ya Misiri,
    era Obwasuli tebulibafuga
    kubanga baagaana okwenenya?
(F)Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe
    ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe,
    ne kikomya enteekateeka zaabwe.
(G)Abantu bange bamaliridde okunvaako.
    Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo,
    taabagulumize.

(H)“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
    Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
    Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
    Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
(I)Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli,
    so siridda kuzikiriza Efulayimu;
kubanga siri muntu wabula ndi Katonda,
    Omutukuvu wakati mu mmwe:
    sirijja na busungu.
10 (J)Baligoberera Mukama;
    era aliwuluguma ng’empologoma.
Bw’aliwuluguma,
    abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11 (K)Balijja nga bakankana
    ng’ebinyonyi ebiva e Misiri,
    era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli.
Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,”
    bw’ayogera Mukama.

Zabbuli 107:1-9

EKITABO V

Zabbuli 107–150

107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
    abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
(C)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
    n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

(D)Abamu baataataaganira mu malungu
    nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
Baalumwa ennyonta n’enjala,
    obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
(E)Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
(F)Yabakulembera butereevu
    n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
(G)Kubanga abalina ennyonta abanywesa,
    n’abayala abakkusa ebirungi.

Zabbuli 107:43

43 (A)Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
    era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

Abakkolosaayi 3:1-11

Ebiragiro ku Butukuvu

Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. (A)Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, (B)kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. (C)Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya

(D)Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. (E)Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, (F)ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. (G)Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. (H)Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 10 (I)ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11 Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.

Lukka 12:13-21

13 Awo omuntu omu mu kibiina n’avaayo n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by’obusika bwaffe.”

14 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Owange, ani eyanfuula omulamuzi wammwe oba ow’okubamaliranga empaka zammwe?” 15 (A)N’abagamba nti, “Mwekuume! Temululunkananga. Kubanga obulamu bw’omuntu tebugererwa ku bugagga bw’abeera nabwo.”

16 Awo n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja omugagga eyalina ennimiro n’abaza ebibala bingi. 17 N’alowooza munda mu ye ng’agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange?’

18 “Kwe kugamba nti, ‘Ntegedde kye nnaakola, nzija kumenyawo amawanika gange gano, nzimbewo agasingako obunene! Omwo mwe nnaakuŋŋaanyiza ebibala byange byonna n’ebintu byange. 19 Era nzija kugamba emmeeme yange nti, “Emmeeme, weeterekedde bingi mu mawanika go okukuyisa mu myaka mingi egijja. Wummula, olye, onywe era weesanyuse!” ’

20 (B)“Naye Katonda n’amugamba nti, ‘Musirusiru ggwe! Ekiro kino emmeeme yo eneekuggibwako. Kale ebyo bye weetegekedde binaaba by’ani?’

21 (C)“Bwe kityo bwe kiriba eri buli muntu eyeeterekera, so nga mwavu eri Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.