Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.
8 (A)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
9 Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (B)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.
12 (C)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (D)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (E)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15 Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
era ggwe weerondera omwana wo.
16 (F)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.
19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulyoke tulokolebwe.
Mukama Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya
5 (A)Ggwe ennyumba ya Yakobo,
mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
6 (B)Wayabulira abantu bo
ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
era basizza kimu ne bannamawanga.
7 (C)Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu,
n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo:
ensi yaabwe ejjudde embalaasi,
era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
8 (D)Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe,
basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo,
engalo zaabwe gwe zeekolera.
9 (E)Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa,
omuntu wa kussibwa wansi.
Mukama, tobasonyiwa!
26 (A)Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi. 27 (B)Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. 28 (C)Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. 29 (D)Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo? 30 (E)Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.” 31 (F)Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.