Add parallel Print Page Options

Abalisigalawo ku Isirayiri

20 (A)Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
    n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo[a]
    eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
    omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21 (B)Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
    kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
22 (C)Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
    abalikomawo nga balamu baliba batono.
Okuzikirira kwo kwa kubaawo
    kubanga kusaanidde.

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:20 Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli

(A)Oboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.”

Read full chapter

31 (A)Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe
    emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala.
32 (B)Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo
    ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona,
kubanga Mukama Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe,
    yeewaddeyo okukikola.

Read full chapter

24 (A)Awo Mukama n’atonnyesa ku Sodomu ne Ggomola omuliro n’obuganga okuva mu ggulu;

Read full chapter

29 (A)Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti,

“Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo zzadde,
twandifuuse nga Sodomu,
    era twandifaananye nga Ggomola.”

Read full chapter