Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 85

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

85 (A)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
    Yakobo omuddizza ebibye.
(B)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
    n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
(C)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
    n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.

(D)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
    oleke okutusunguwalira.
(E)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
    Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
(F)Tolituzaamu ndasi,
    abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
    era otuwe obulokozi bwo.

(G)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
    asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
    naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
(H)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
    ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.

10 (I)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
    obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (J)Obwesigwa bulose mu nsi,
    n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (K)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
    n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
    era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.

Koseya 1:11-2:15

11 (A)Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”

(B)“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”

Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe

(C)Munenye nnyammwe,
    mumunenye,
    kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.
Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,
    n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;
(D)nneme okumwambulira ddala
    ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa;
ne mmufuula ng’eddungu,
    ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa,
    ne mmussa ennyonta.
(E)Sirilaga kwagala kwange eri abaana be,
    kubanga baana ba bwenzi.
(F)Nnyabwe yakola obwenzi,
    n’abazaalira mu buwemu.
Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi,
    n’ebimbugumya n’ebyokwambala,
    n’amafuta n’ekyokunywa.”
(G)Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa,
    ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
(H)Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
    naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
    kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
    okusinga bwe ndi kaakano.”
(I)Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano,
    ne wayini n’amafuta,
era eyamuwa effeeza ne zaabu
    bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
(J)“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde,
    ne wayini wange ng’atuuse;
era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo,
    bye yayambalanga.
10 (K)Era kyenaava nyanika obukaba bwe
    mu maaso ga baganzi be,
    so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
11 (L)Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
    n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
    n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
12 (M)Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye,
    gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’
Ndibizisa,
    era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
13 (N)Ndimubonereza olw’ennaku
    ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
    n’agenda eri baganzi be,
    naye nze n’aneerabira,”
    bw’ayogera Mukama.

14 Kale kyendiva musendasenda,
    ne mmutwala mu ddungu,
    ne njogera naye n’eggonjebwa.
15 (O)Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,
    ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli[a] oluggi olw’essuubi.
Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,
    era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.

Lukka 8:22-25

Yesu Akkakkanya Omuyaga

22 Lwali lumu Yesu n’alinnya mu lyato n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Tuwunguke tulage emitala w’ennyanja.” Ne basimbula okugenda. 23 Bwe baali baseeyeeya Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’eryato ne liyuuga nnyo, ne baba mu kabi kanene.

24 (A)Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, “Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!” N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’amazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja n’etteeka! 25 N’alyoka abagamba nti, “Okukkiriza kwammwe kuluwa?”

Ne batya, ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti, “Omuntu ono ye ani? Alagira omuyaga n’amazzi ne bimugondera!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.