Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
85 (A)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
Yakobo omuddizza ebibye.
2 (B)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
3 (C)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.
4 (D)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
oleke okutusunguwalira.
5 (E)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
6 (F)Tolituzaamu ndasi,
abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
7 Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
era otuwe obulokozi bwo.
8 (G)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (H)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (I)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (J)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (K)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
Okulabula eri Isirayiri
4 (A)Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri,
kubanga Mukama abalinako ensonga
mmwe abatuula mu nsi.
“Obwesigwa n’okwagala Katonda,
n’okumumanya bikendedde mu nsi.
2 (B)Waliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta,
n’okubba, n’okukola eby’obwenzi;
bawaguza,
era bayiwa omusaayi obutakoma.
3 (C)Ensi kyeneeva ekaaba,
ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa;
n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa,
n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.
4 (D)“Naye temuloopagana,
so tewabaawo muntu avunaana munne,
kubanga ensonga
ngivunaana gwe kabona.
5 (E)Wakola ebibi emisana n’ekiro,
ne bannabbi ne babikolera wamu naawe;
kyendiva nzikiriza maama[a] wo.
6 (F)Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya.
“Kyemunaava mulema
okubeera bakabona bange;
era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo,
nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.
7 (G)Gye beeyongera okuba abangi,
gye baakoma n’okukola ebibi;
baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.
8 (H)Bagaggawalira ku bibi by’abantu bange,
era basemba okwonoona kwabwe.
9 (I)Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona:
ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe,
era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.
10 (J)“Balirya naye tebalikkuta,
balikola ebibi eby’obwenzi kyokka tebalyeyongera bungi,
kubanga bavudde ku Mukama ne beewaayo 11 (K)eri obwenzi,
wayini omukadde n’omusu,
ne bibamalamu okutegeera. 12 (L)Abantu bange
beebuuza ku kikonge ky’omuti,
ne baddibwamu omuti.
Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda
ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.
13 (M)Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.
14 (N)“Siribonereza bawala bammwe
olw’okubeera bamalaaya,
newaakubadde baka baana bammwe
okukola eby’obwenzi,
kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya,
ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo;
abantu abatategeera balizikirira.
15 (O)“Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda,
omusango guleme okuba ku Yuda.
Togenda Girugaali,
newaakubadde okwambuka e Besaveni.[b]
Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’
16 (P)Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima
ng’ennyana endalu.
Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira
ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?
17 Efulayimu yeegasse n’abasinza ebifaananyi,
mumuleke abeere yekka.
18 Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako,
beeyongera mu bwamalaaya;
n’abakulembeze baabwe baagala nnyo eby’ensonyi:
19 (Q)Embuyaga kyeziriva zibatwala,
ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”
Matiya Asikira Yuda
15 Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti, 16 (A)“Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi. 17 (B)Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.”
18 (C)Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika. 19 Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!
20 (D)“Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti,
“ ‘Ekibanja kye kizike,
so kireme okubeerangamu omuntu.’
‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.