Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”
52 (A)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
2 (B)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
Olulimi lwo lwogi nga kkirita
era buli kiseera lwogera bya bulimba.
3 (C)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
n’okulimba okusinga okwogera amazima.
4 (D)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
Ggwe olulimi kalimbira!
5 (E)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
alikusikula, akuggye mu maka go;
alikugoba mu nsi y’abalamu.
6 (F)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
7 (G)“Mumulabe omusajja
ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
18 (A)Zibasanze mmwe abasuubira
olunaku lwa Mukama.
Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama?
Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.
19 (B)Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma
n’asisinkana eddubu,
bw’aba ng’ayingira mu nnyumba
ne yeekwata ku kisenge,
ate n’abojjebwa omusota.
20 (C)Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono,
ng’ekizikiza ekikutte ennyo?
21 (D)Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini
so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.
22 (E)Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,
sijja kubikkiriza.
Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,
siribikkiriza.
23 (F)Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza.
Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.
24 (G)Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi,
n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.
25 (H)“Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu
emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
26 Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe,
amaanyi ga bakatonda bammwe,
n’emmunyeenye ya katonda wammwe,
bye mwekolera mmwe.
27 (I)Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,”
bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.
Okwagala kwa Kristo
14 (A)Nfukaamirira Kitaffe, 15 ebika byonna eby’omu ggulu n’eby’oku nsi mwe biggya obulamu. 16 (B)Nsaba Katonda oyo akola eby’ekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe ow’omunda, olw’Omwoyo we, 17 (C)Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olw’okukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga n’emirandira mu kwagala nga mukunywereddemu, 18 (D)mulyoke mubeerenga n’amaanyi awamu n’abatukuvu bonna, okusobola okutegeera obugazi, n’obuwanvu, n’obugulumivu n’okukka wansi ebiri mu kwagala kwa Kristo. 19 (E)Njagala mutegeere okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke musobole okutegeerera ddala Katonda bw’ali.
20 (F)Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe, 21 (G)agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe n’emirembe. Amiina.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.