Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.
75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.
2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
era nsala omusango gwa bwenkanya.
3 (B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
naye nze nywezezza empagi zaayo.”
4 (C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
n’okwogera nga muduula.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
7 (D)wabula biva eri Katonda;
era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
8 (E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
15 (A)Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira. 16 (B)Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.”
Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”
17 (C)Naye bwe baamuwaliriza, n’atendewalirwa, n’abagamba nti, “Kale, mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonya okumala ennaku ssatu naye ne batamulaba. 18 Bwe bakomawo gy’ali mu Yeriko, n’abagamba nti, “Saabalabudde obutagenda?”
Okutukuzibwa kwa Mazzi
19 Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bw’olaba, naye amazzi gaamu mabi, era n’ensi si njimu.” 20 N’abagamba nti, “Mundeetere ebbakuli empya nga mutaddemu omunnyo.” Ne bagimuleetera. 21 (D)N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’ ” 22 (E)Amazzi ne galongooka, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Erisa bwe kyali, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
7 (A)Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, naye mbawandiikira ekiragiro ekyabaawo edda, kye kyo kye mwawuliranga okuva ku lubereberye. 8 (B)Kyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogw’amazima kaakano gwaka.
9 Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate n’akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza. 10 (C)Naye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza. 11 (D)Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw’atambulira, nga tategeera gy’alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.