Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 124

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

124 (A)Isirayiri agamba nti,
    singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
    abalabe baffe bwe baatulumba,
banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
    obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
    ne mukoka n’atukulukutirako;
amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
    ganditukuluggusizza.

Mukama atenderezebwe
    atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
(B)Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
    ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
    naffe tuwonye!
(C)Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Engero 8:4-21

Mmwe abantu, mmwe b’empita;
    nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
(A)Mmwe abatategeera mufune okutegeera;
    nammwe abasirusiru mufune amagezi.
Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba,
    era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
(B)Akamwa kange koogera bituufu byereere;
    kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.
Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya
    tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.
Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera,
    era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.
10 (C)Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange,
    era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,
11 (D)kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi,
    era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.

12 (E)Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi,
    era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
13 (F)Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;
    nkyawa amalala n’okwemanya,
    n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
14 (G)Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange;
    ntegeera era ndi wa buyinza.
15 (H)Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga,
    abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.
16 Abalangira bafuga ku bwange,
    n’abakungu bonna abafuga ku nsi.
17 (I)Njagala abo abanjagala,
    n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.
18 (J)Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze,
    obugagga obutakoma n’okukulaakulana.
19 (K)Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose,
    n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.
20 Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu,
    mu kkubo ery’obwenkanya,
21 (L)n’abo abanjagala mbagaggawaza
    era nzijuza amawanika gaabwe.

Abaefeso 5:15-20

15 Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, 16 (A)nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi. 17 (B)Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 (C)Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 (D)Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 (E)Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.