Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
11 (A)Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 (B)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero;
era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 (C)Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
16 (D)Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 (E)Ebire byayiwa amazzi
ne bivaamu n’okubwatuka,
era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 (F)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 (G)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
wayita mu mazzi amangi,
naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
20 (H)Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.
13 (A)Naye kabaka teyakoma ku abo, n’amutumira omukulu owookusatu ow’ekibinja ekirala eky’amakumi ataano, n’agenda eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya n’afukamira mu maaso ge, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda nkwegayiridde, onsasire, nneme okufa. 14 Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abakulu bombi n’ebibinja byabwe, naye kaakano osaasire obulamu bwange.”
15 (B)Awo malayika wa Mukama n’agamba Eriya nti, “Serengeta naye, so tomutya.” Awo Eriya n’asituka n’aserengeta n’omubaka wa kabaka eri kabaka.
16 (C)Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.” 17 (D)N’afa, ng’ekigambo kya Mukama kye yatuma Eriya bwe kyali.
Olwokubanga Akaziya teyalina mwana wabulenzi, Yekolaamu n’amusikira okuba kabaka, mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati eyali kabaka wa Yuda. 18 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Akaziya ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
3 (A)Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?”
Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”
4 (B)Eriya n’addamu omulundi ogwokubiri n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”
Awo ne bagenda bonna e Yeriko.
5 (C)Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.”
21 (A)Awo Yesu n’abakuutira, ng’abalagira obutakitegeezaako muntu yenna, 22 (B)n’abategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana w’Omuntu, okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakulembeze b’Abayudaaya, ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”
23 (C)Era bonna n’abagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere! 24 (D)Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola. 25 Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe? 26 (E)Buli alinkwatirwa ensonyi, nze n’ebigambo byange, n’Omwana w’Omuntu, alimukwatirwa ensonyi, bw’alijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.
27 “Naye ddala ddala mbagamba nti abamu ku abo abayimiridde wano waliwo abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.