Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebikolwa by’Abatume 2:1-21

Mwoyo Mutukuvu ajja ku Pentekoote

(A)Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. (B)Amangwago okuwuuma, nga kuli ng’empewo ey’amaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. Ku buli omu ne kutuulako ennimi ng’ez’omuliro. (C)Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.

(D)Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi w’eggulu. Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lw’ewaabwe. (E)Ne bawuniikirira ne beewuunya ne bagamba nti, “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya? Kale lwaki tuwulira buli muntu olulimi lw’ewaffe gye twazaalibwa? (F)Tubawulira nga boogera eby’amagero bya Katonda mu nnimi ez’Abapaazi, n’Abameedi, n’Abeeramiti, n’ez’abalala abava e Mesopotamiya, ne Buyudaaya, ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, 10 (G)ne mu Fulugiya ne mu Panfuliya, n’abamu abava mu Misiri, n’ensi za Libiya okuliraana Kuleene, n’abagenyi Abaruumi, 11 Abayudaaya, n’abakyuka ne basoma Ekiyudaaya, n’Abakuleete n’Abawalabu.” 12 Bonna ne beewuunya nga bawuniikiridde, ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?”

13 (H)Naye abalala ne baseka busesi nga bagamba nti, “Banywedde mwenge musu!”

Okwogera kwa Peetero

14 Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize. 15 (I)Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya! 16 Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,

17 (J)“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
    bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
    n’abakadde baliroota ebirooto.
18 (K)Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange,
    ku baweereza bange abasajja n’abakazi;
    baliwa obunnabbi.
19 Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu,
    n’obubonero ku nsi wansi,
    omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
20 (L)Enjuba erifuuka ekizikiza,
    n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
    olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.
21 (M)Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama,
    alirokolebwa.’ 

Olubereberye 11:1-9

Omunaala gwa Babiri

11 Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu. (A)Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.

(B)Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. (C)Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”

(D)Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. (E)Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”

(F)Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. (G)Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.

Zabbuli 104:24-34

24 (A)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
    Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
    ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (B)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
    ejjudde ebitonde ebitabalika,
    ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (C)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
    ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27 (D)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
    okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (E)Bw’ogibiwa,
    nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
    ne bikkusibwa.
29 (F)Bw’okweka amaaso go
    ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
    nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
    ne bifuna obulamu obuggya;
    olwo ensi n’ogizza buggya.

31 (G)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
    era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (H)Atunuulira ensi, n’ekankana;
    bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33 (I)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
    nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (J)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
    kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.

Zabbuli 104:35

35 (A)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
    aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.

Abaruumi 8:14-17

14 (A)kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda. 15 (B)Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “Aba, Kitaffe.” 16 (C)Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda. 17 (D)Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.

Ebikolwa by’Abatume 2:1-21

Mwoyo Mutukuvu ajja ku Pentekoote

(A)Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. (B)Amangwago okuwuuma, nga kuli ng’empewo ey’amaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. Ku buli omu ne kutuulako ennimi ng’ez’omuliro. (C)Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.

(D)Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi w’eggulu. Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lw’ewaabwe. (E)Ne bawuniikirira ne beewuunya ne bagamba nti, “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya? Kale lwaki tuwulira buli muntu olulimi lw’ewaffe gye twazaalibwa? (F)Tubawulira nga boogera eby’amagero bya Katonda mu nnimi ez’Abapaazi, n’Abameedi, n’Abeeramiti, n’ez’abalala abava e Mesopotamiya, ne Buyudaaya, ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, 10 (G)ne mu Fulugiya ne mu Panfuliya, n’abamu abava mu Misiri, n’ensi za Libiya okuliraana Kuleene, n’abagenyi Abaruumi, 11 Abayudaaya, n’abakyuka ne basoma Ekiyudaaya, n’Abakuleete n’Abawalabu.” 12 Bonna ne beewuunya nga bawuniikiridde, ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?”

13 (H)Naye abalala ne baseka busesi nga bagamba nti, “Banywedde mwenge musu!”

Okwogera kwa Peetero

14 Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize. 15 (I)Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya! 16 Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,

17 (J)“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
    bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
    n’abakadde baliroota ebirooto.
18 (K)Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange,
    ku baweereza bange abasajja n’abakazi;
    baliwa obunnabbi.
19 Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu,
    n’obubonero ku nsi wansi,
    omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
20 (L)Enjuba erifuuka ekizikiza,
    n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
    olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.
21 (M)Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama,
    alirokolebwa.’ 

Yokaana 14:8-17

Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”

(A)Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’ 10 (B)Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze. 11 (C)Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.

12 (D)“Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange. 13 (E)Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14 Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”

Okusuubizibwa Mwoyo Mutukuvu

15 (F)“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange, 16 (G)nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe, 17 (H)Mwoyo ow’Amazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.

Yokaana 14:25-27

25 Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. 26 (A)Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba. 27 (B)Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.