Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 59

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.

59 (A)Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
    onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
(B)Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
    era ondokole mu batemu.

(C)Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
    Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
    so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
(D)Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
    Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
(E)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
    golokoka obonereze amawanga gonna;
    abo bonna abasala enkwe tobasaasira.

(F)Bakomawo buli kiro,
    nga babolooga ng’embwa,
    ne batambulatambula mu kibuga.
(G)Laba, bwe bavuma!
    Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
    nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
(H)Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
    era amawanga ago gonna oganyooma.

(I)Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10     Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
    ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 (J)Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
    abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
    n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 (K)Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
    n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
    leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13     (L)Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
    bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
    nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.

14 Bakomawo nga buwungedde
    nga babolooga ng’embwa,
    ne batambulatambula mu kibuga.
15 (M)Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
    ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 (N)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
    mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
    era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.

17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
    kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.

2 Bassekabaka 9:30-37

Okufa kwa Yezeberi

30 (A)Yeeku n’agenda Yezeberi gye yali, Yezeberi n’akimanya, n’asiiga amaaso ge, n’alongoosa enviiri ze, n’atunula ebweru ng’asinziira mu ddirisa. 31 (B)Awo Yeeku bwe yali ng’ayingirira mu wankaaki, Yezeberi n’amubuuza nti, “Ojja mirembe, ggwe Zimuli, eyatemula mukama wo?”

32 Yeeku n’ayimusa amaaso ge waggulu, n’akoowoola ng’abuuza nti, “Ani ali ku ludda lwange? Ani?” Abalaawe babiri oba basatu ne balingiza mu ddirisa. 33 (C)N’ayogera nti, “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, n’omusaayi gwe ogumu ne gumansukira ekisenge ne ku mbalaasi, n’okumulinyirira ne zimulinnyirira.

34 (D)Awo Yeeku n’ayingira, n’alya era n’anywa. N’ayogera nti, “Mulabirire omulambo gw’omukazi oyo eyakolimirwa, era mulabe nga guziikibwa kubanga yali mumbejja.” 35 Naye bwe bagutuukako, tebaalina kye basangawo okuggyako akawanga ke, n’ebigere bye, n’ebibatu by’emikono gye. 36 (E)Ne baddayo eri Yeeku ne bamutegeeza. N’abagamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama, kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng’agamba nti, ‘Mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, embwa mwe ziririira omulambo gwa Yezeberi. 37 (F)Era omulambo gwa Yezeberi guliba ng’obusa ku ttale mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, omuntu yenna aleme okugamba nti, Ono ye Yezeberi.’ ”

Lukka 9:37-43

Yesu Awonya Omwana Eyaliko Dayimooni

37 Awo enkeera bwe baakomawo nga bava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kijja okusisinkana Yesu. 38 Omusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. 39 Kubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. 40 Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.”

41 (A)Awo Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.”

42 Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe. 43 Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti,

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.