Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 59

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.

59 (A)Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
    onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
(B)Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
    era ondokole mu batemu.

(C)Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
    Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
    so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
(D)Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
    Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
(E)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
    golokoka obonereze amawanga gonna;
    abo bonna abasala enkwe tobasaasira.

(F)Bakomawo buli kiro,
    nga babolooga ng’embwa,
    ne batambulatambula mu kibuga.
(G)Laba, bwe bavuma!
    Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
    nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
(H)Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
    era amawanga ago gonna oganyooma.

(I)Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10     Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
    ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 (J)Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
    abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
    n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 (K)Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
    n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
    leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13     (L)Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
    bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
    nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.

14 Bakomawo nga buwungedde
    nga babolooga ng’embwa,
    ne batambulatambula mu kibuga.
15 (M)Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
    ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 (N)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
    mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
    era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.

17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
    kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.

2 Bassekabaka 9:14-26

Yeeku atta Yolaamu ne Akaziya

14 (A)Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi n’asalira Yolaamu olukwe. Yolaamu wamu ne Isirayiri yenna baali bakuuma e Lamosugireyaadi, Kazayeeri kabaka w’e Busuuli aleme okubalumba. 15 (B)Naye Yolaamu yali azeeyo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu Abasuuli bye baali bamutaddeko, mu kulwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Yeeku n’ayogera nti, “Bwe muba nga bwe mutyo bwe muwulira, kale waleme okubaawo omuntu yenna atoloka okuva mu kibuga anaabunyisa amawulire mu Yezuleeri.” 16 (C)N’alinnya mu ggaali lye, n’agenda e Yezuleeri, kubanga Yolaamu yali awummulidde eyo, nga ne Akaziya aserengese okugenda okumulabako.

17 (D)Awo omukuumi eyali mu kigo mu Yezuleeri, bwe yalengera ekibinja kya Yeeku nga kijja, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Waliwo ekibinja kye nnengera ekijja.”

Yolaamu n’alagira nti, “Mufune omu ku beebagala embalaasi, mumutume agende abasisinkane, ababuuze nti, ‘Mujja mirembe?’ ”

18 Awo eyeebagala embalaasi n’agenda okusisinkana Yeeku, n’amugamba nti, “Kabaka abuuza nti, ‘Mujja mirembe?’ ”

Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.” Omukuumi eyali mu kigo n’ayogera nti, “Atuuse gye bali, naye tadda.”

19 Awo kabaka n’atuma eyeebagala embalaasi owookubiri. Bwe yatuuka we baali, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Mujja mirembe?’ ” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.”

20 (E)Omukuumi n’addamu n’ayogera nti, “Oli naye atuuse, gye bali, naye tadda. N’enneebagala y’embalaasi efaanana ng’enneebala ya Yeeku muzzukulu wa Nimusi, kubanga enneebagala ye yakiralu.”

21 (F)Yolaamu n’ayogera nti, “Muteeketeeke eggaali lyange.” Bwe baamala okuliteekateeka, Yolaamu kabaka wa Isirayiri ne Akaziya kabaka wa Yuda, ne bafuluma ekibuga, buli omu ng’ali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeeku, era baamusisinkanira mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. 22 (G)Awo Yolaamu bwe yalaba Yeeku, n’amubuuza nti, “Ojja mirembe Yeeku?” Yeeku n’amuddamu nti, “Kiyinzika kitya okubaawo emirembe, nga wakyaliwo obwenzi n’obulogo bwa nnyoko Yezeberi?” 23 (H)Amangwago Yolaamu n’akyusa n’adduka, ng’akoowoola Akaziya ng’agamba nti, “Akaziya waliwo olukwe!”

24 (I)Awo Yeeku n’aggyayo omutego gwe n’obusaale bwe, n’amaanyi ge gonna n’anaanuula omutego n’alasa Yolaamu mu kibegabega, akasaale ne kafumita omutima gwe, n’agwa mu ggaali lye. 25 (J)Yeeku n’agamba Bidukali, omugoba we ggaali lye nti, “Mumuggyeemu, mumusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. Ojjukira bwe twali tuvugira amagaali gaffe emabega wa Akabu kitaawe, Mukama n’ayogera nti ekintu kino kirimutuukako. 26 (K)‘Mazima ddala, nga jjo bwe nnalabye omusaayi gwa Nabosi n’omusaayi gw’abaana be, siireme kukusasulira mu kibanja kino kyennyini,’ bw’ayogera Mukama. Kaakano mumusitule mumusuule mu kibanja ekyo ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri.”

Abaefeso 2:11-22

11 Noolwekyo mujjukire, ng’edda mmwe abaali Abaamawanga mu mubiri, abaayitibwanga abatali bakomole abo abeeyita abaakomolebwa, kyokka nga baakomolebwa mu mubiri na ngalo z’abantu, 12 (A)nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ng’Abaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda ey’ekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga n’essuubi temulina. 13 (B)Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.

14 Kristo gy’emirembe gyaffe, oyo eyatufuula ffe Abayudaaya nammwe Abaamawanga, okuba omuntu omu, ng’amenyeewo ekisenge ekya wakati eky’obulabe, ekyatwawulanga. 15 (C)Yadibya n’etteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ng’aleeta emirembe, 16 alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olw’omusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo. 17 Yajja okubuulira emirembe abo abaali ewala ne Katonda, n’abo abaali okumpi naye. 18 (D)Ku bw’oyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.

19 (E)Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. 20 (F)Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. 21 (G)Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. 22 Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo ky’azimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.