Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 29

Zabbuli ya Dawudi.

29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
    Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
(B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
    musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.

(C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
    Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
    n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
(D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
    eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
(E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
    Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
(F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
    ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
Eddoboozi lya Mukama
    libwatukira mu kumyansa.
(G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
    Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
(H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
    n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”

10 (I)Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka.
    Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
11 (J)Mukama awa abantu be amaanyi;
    Mukama awa abantu be emirembe.

Okuva 40:16-38

16 Musa bw’atyo n’akola ebyo byonna nga Mukama bwe yamulagira.

17 (A)Awo ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye, mu mwaka ogwokubiri, Eweema ya Mukama n’esimbibwa. 18 Musa n’asimba Eweema ya Mukama; n’ateekateeka ebya wansi mw’etuula, n’ategeka olukangaga lwayo, n’asimba empagi zaayo; 19 n’assaako ekibikka ku Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.

20 (B)N’addira Endagaano, ey’ebipande eby’amayinja okwasalibwa Amateeka Ekkumi, n’agiteeka munda mu Ssanduuko ey’Endagaano, n’assa emisituliro ku Ssanduuko ey’Endagaano, n’assaako kungulu ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira; 21 (C)n’ayingiza Essanduuko ey’Endagaano munda mu Weema ya Mukama, n’atimbawo eggigi, n’asiikiriza Essanduuko ey’Endagaano, nga Mukama bwe yalagira Musa.

22 (D)N’ayingiza emmeeza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’agiteeka ku ludda olw’Obukiikakkono olwa Weema ya Mukama, wabweru w’eggigi, 23 (E)n’assaako emigaati ng’agitegese bulungi awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa. 24 (F)N’assa ekikondo ky’ettaala mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu ku ludda olw’Obukiikaddyo obw’Eweema ya Mukama, okwolekera emmeeza, 25 (G)n’ategeka ettaala awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.

26 (H)N’ayingiza ekyoto ekya zaabu mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’eggigi, 27 (I)n’ayokerako obubaane obwa kawoowo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 28 (J)N’ateeka olutimbe olw’omu mulyango gw’Eweema ya Mukama mu kifo kyalwo.

29 (K)N’ateeka ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku mulyango gw’Eweema ya Mukama, weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’aweerayo okwo ekiweebwayo ekyokebwa eky’obuwunga, nga Mukama bwe yalagira Musa. 30 (L)N’atereeza ebbensani wakati wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, n’assaamu amazzi ag’okunaaba; 31 Musa ne Alooni ne batabani ba Alooni mwe baanaabiranga engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 32 (M)Buli lwe baayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne buli lwe baasembereranga ekyoto nga banaaba, nga Mukama bwe yalagira Musa.

33 (N)N’akola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’assaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya. Bw’atyo Musa omulimu n’agumaliriza.

Ekitiibwa kya Mukama

34 (O)Awo ekire ne kibuutikira Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, yonna n’ejjula ekitiibwa kya Mukama. 35 (P)Musa n’atasobola kuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kubanga ekire kyagibuutikira, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.

36 (Q)Mu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula; 37 naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako. 38 (R)Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.

Ebikolwa by’Abatume 16:35-40

35 Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.” 36 (A)Omukuumi w’ekkomera n’ategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”

37 (B)Naye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”

38 (C)Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo. 39 (D)Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe. 40 (E)Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, n’oluvannyuma ne basitula ne bagenda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.