Add parallel Print Page Options

11 bakabona n’okuyinza ne batayinza kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.

Read full chapter

13 (A)Awo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti,

“Mulungi,
    kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.”

Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire. 14 (B)Bakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogw’obuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama.

Read full chapter