Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 19:1-4

Eriya Addukira e Kolebu

19 (A)Awo Akabu n’abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola, ne bwe yatta bannabbi bonna n’ekitala. (B)Yezeberi n’atumira Eriya omubaka okumugamba nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, bwe siifuule obulamu bwo okuba ng’obulamu bw’omu ku bo, essaawa nga zino enkya.”

(C)Eriya n’atya nnyo, n’adduka okuwonya obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeruseba mu Yuda, n’aleka eyo omuweereza we. (D)Naye ye n’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’atuuka awali omwoloola, n’atuula wansi waagwo, n’asaba afe. N’ayogera nti, “Kino kimala, Mukama, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange.”

1 Bassekabaka 19:5-7

(A)N’agalamira wansi w’omwoloola ne yeebaka.

Amangwago malayika n’amukomako, n’amugamba nti, “Golokoka olye.” N’agolokoka, laba ng’emitwetwe we waliwo akasumbi k’amazzi n’omugaati omwokye. N’alya n’anywa, n’addamu n’agalamira.

Malayika wa Mukama n’akomawo omulundi ogwokubiri n’amukomako n’amugamba nti, “Golokoka olye, kubanga olugendo lunene.”

1 Bassekabaka 19:8-15

(A)Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.

Mukama Alabikira Eriya

(B)Bwe yatuuka eyo, n’ayingira mu mpuku, n’asula omwo. Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, “Okola ki wano, Eriya?” 10 (C)N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye ne nkwatibwa n’obuggya ku lulwe. Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzekka, ne kaakano bannoonya okunzita.”

11 (D)Mukama n’amugamba nti, “Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo.”

Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era Mukama nga taliimu. 12 (E)Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa. 13 (F)Eriya bwe yaliwulira, n’abikka[a] amaaso ge n’omunagiro gwe n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku.

Awo Mukama n’amugamba nti, “Okola ki wano Eriya?”

14 (G)N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye, naye Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenyeemenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzeka, ne kaakano bannoonya okunzita.”

15 (H)Mukama n’amugamba nti, “Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bw’onootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w’e Busuuli,

Zabbuli 42

EKITABO II

Zabbuli 42–72

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
    n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
(B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
    Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
(C)Nkaabirira Mukama
    emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
    abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
(D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
    nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
    nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
    n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

(E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
    kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
    ye mubeezi wange.

Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
    yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
    ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
(F)Obuziba bukoowoola obuziba,
    olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
    bimpiseeko.

(G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
    ne muyimbira oluyimba lwe;
    y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

(H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
    “Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
    olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
    bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
    “Katonda wo ali ludda wa?”

11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
    kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era ye Katonda wange.

Zabbuli 43

43 (A)Ayi Katonda, onnejjeereze
    omponye eggwanga eritatya Katonda
    ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
(B)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
    Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
    nga nnyigirizibwa omulabe?
(C)Kale tuma omusana gwo n’amazima
    binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
    mu kifo mw’obeera.
(D)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
    eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
    Ayi Katonda, Katonda wange.

(E)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era Katonda wange.

Abaggalatiya 3:23-29

23 (A)Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 (B)ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.

Baana ba Katonda

26 (C)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (D)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (E)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.

Lukka 8:26-39

Yesu Awonya Omusajja Eyaliko Baddayimooni

26 Awo ne bagoba emitala w’eri mu nsi y’Abageresene eyolekedde Ggaliraaya. 27 Awo Yesu bwe yava mu lyato omusajja eyaliko baddayimooni n’ajja okumusisinkana ng’ava mu kibuga. Omusajja oyo yali amaze ebbanga ddene nga tayambala ngoye, nga tasula na mu nju, wabula ng’asula mu ntaana. 28 (A)Awo bwe yalaba Yesu n’awowoggana n’agwa wansi mu maaso ga Yesu, n’aleekaana nti, “Onjagaza ki, Yesu, Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayiridde tombonyaabonya!”

29 Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku musajja oyo. Emirundi mingi yalumbibwanga n’amaanyi mangi, ne bwe baamusibanga n’enjegere, n’akuumibwa mu masamba, yabikutulanga, ddayimooni n’amulaza mu ddungu.

30 Awo Yesu n’abuuza omusajja nti, “Erinnya lyo ggwe ani?”

Omusajja n’addamu nti, “Nze Ligyoni,” kubanga omusajja yaliko baddayimooni bangi. 31 (B)Baddayimooni ne beegayirira Yesu aleme okubagobera mu bunnya obutakoma.

32 Waaliwo eggana ly’embizzi, awo ku lusozi, nga lirya, baddayimooni ne beegayirira Yesu abasindike mu mbizzi ezo. Yesu n’abakkiriza. 33 (C)Baddayimooni ne bava ku musajja ne bayingira mu mbizzi, amangwago eggana lyonna ne lifubutuka nga liserengeta olusozi, ne lyewanula ku bbangabanga, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo. 34 Abalunzi b’embizzi ezo bwe baakiraba, ne badduka embiro ne bagenda, ne bategeeza ab’omu malundiro ne mu kibuga, ebintu byonna ebibaddewo. 35 (D)Ekibiina ky’abantu ne bagenda okulaba ebibaddewo ne bajja eri Yesu, ne balaba omusajja eyagobwako baddayimooni ng’atudde awo awali ebigere bya Yesu ng’ayambadde engoye era nga mulamu ddala! Ne batya nnyo. 36 (E)Abo abaaliwo okusookera ddala ne bategeeza abalala ng’omusajja eyaliko ddayimooni bwe yawonyezebwa. 37 (F)Awo abantu bonna ab’ensi eyo ey’Abagerasene ne basaba Yesu abaviire, kubanga baali batidde nnyo. N’asaabala mu lyato n’avaayo.

38 Omusajja, eyagobwako baddayimooni n’amusaba agende naye, naye Yesu n’agaana. 39 N’agamba omusajja nti, “Ddayo ewammwe obategeeze Katonda by’akukoledde.” Omusajja n’agenda ng’ategeeza buli gwe yasanganga mu kibuga, Yesu bye yali amukoledde.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.