Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Lukka 1:46-55

Oluyimba lwa Maliyamu

46 (A)Maliyamu n’agamba nti,

47 (B)“Emmeeme yange etendereza Mukama.
    N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 (C)Kubanga alabye
    obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49     (D)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
    N’erinnya lye ttukuvu.
50 (E)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
    eri abo abamutya.
51 (F)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
    Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
    n’agulumiza abawombeefu.
53 (G)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
    Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (H)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
    n’ajjukira okusaasira,
55 (I)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
    eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

Mikka 4:1-5

Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna

(A)Mu nnaku ez’oluvannyuma
    olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa
    okusinga ensozi zonna;
lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,
    era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.

(B)Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,

“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.
Alituyigiriza by’ayagala
    tulyoke tutambulire mu makubo ge.”
Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,
    n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
(C)Aliramula amawanga
    atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala.
Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi,
    n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
    so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
(D)Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe
    ne mu mutiini gwe.
Tewalibaawo abatiisa
    kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
(E)Newaakubadde nga amawanga gonna
    galigoberera bakatonda baago,
naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama
    Katonda waffe emirembe n’emirembe.

Abaefeso 2:11-22

11 Noolwekyo mujjukire, ng’edda mmwe abaali Abaamawanga mu mubiri, abaayitibwanga abatali bakomole abo abeeyita abaakomolebwa, kyokka nga baakomolebwa mu mubiri na ngalo z’abantu, 12 (A)nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ng’Abaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda ey’ekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga n’essuubi temulina. 13 (B)Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.

14 Kristo gy’emirembe gyaffe, oyo eyatufuula ffe Abayudaaya nammwe Abaamawanga, okuba omuntu omu, ng’amenyeewo ekisenge ekya wakati eky’obulabe, ekyatwawulanga. 15 (C)Yadibya n’etteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ng’aleeta emirembe, 16 alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olw’omusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo. 17 Yajja okubuulira emirembe abo abaali ewala ne Katonda, n’abo abaali okumpi naye. 18 (D)Ku bw’oyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.

19 (E)Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. 20 (F)Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. 21 (G)Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. 22 Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo ky’azimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.