Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
68 (A)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (B)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (C)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (D)okulaga bajjajjaffe ekisa,
n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73 (E)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (F)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75 (G)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.
76 (H)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (I)Okumanyisa abantu be obulokozi,
obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (J)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (K)okwakira abo abatudde mu kizikiza
ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”
Olunaku lwa Mukama
4 (A)“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi. 2 (B)Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo. 3 (C)Era mulirinnya ku babi, kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndibalokolerako,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
4 (D)“Mujjukire okugonderanga amateeka ga Musa omuddu wange, ebiragiro n’amateeka bye namukwasa ku Kolebu olwa Isirayiri yenna.
5 (E)“Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa Mukama olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka, 6 (F)era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, n’omutima gw’abaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.”
Yesu Atuma Ekkumi n’Ababiri
9 (A)Awo olunaku lwali lumu Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri bonna awamu, n’abawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu n’okuwonya endwadde. 2 (B)N’abawa obuyinza n’abatuma bagende bategeeze abantu ebigambo by’obwakabaka bwa Katonda era bawonye n’abalwadde. 3 (C)N’abalagira nti, “Temwetwalira kintu kyonna nga mugenda, wadde omuggo, oba ensawo, oba emmere, wadde ffeeza wadde essaati ebbiri. 4 Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga. 5 (D)Bwe muyingiranga mu kibuga, abantu baamu ne batabaaniriza, mubaviirenga, era bwe mubanga mufuluma mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe, ebe omujulirwa eri bo.” 6 Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.