Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Lukka 1:68-79

68 (A)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
    kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (B)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
    mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (C)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
    n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (D)okulaga bajjajjaffe ekisa,
    n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73     (E)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (F)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
    tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75     (G)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.

76 (H)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
    kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (I)Okumanyisa abantu be obulokozi,
    obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (J)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
    Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (K)okwakira abo abatudde mu kizikiza
    ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”

Malaki 3:13-18

13 (A)“Weewaawo ebigambo byammwe gye ndi bibadde bya bukambwe,” bw’ayogera Mukama.

“Ate nga mugamba nti, ‘Twakwogerako tutya obubi?’ 

14 (B)“Mwayogera nti, ‘Eby’okuweereza Katonda tebigasa, era kigasa ki okukwata ebiragiro bye era n’okutambulira mu maaso ga Mukama ow’Eggye ng’abakungubaga? 15 (C)Okuva kaakano abeegulumiza tubayita ba mukisa; abakozi b’ebibi bakulaakulana era n’abo abasoomoza Katonda nabo bawona.’ ”

16 (D)Abo abatya Mukama bayogeragana bokka ne bokka, Mukama n’abawulira. Ekitabo eky’okujjukira abatya Mukama ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ng’alaba.

17 (E)“Kale baliba bange,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “ku lunaku lwe ndibakyusizaako okuba ekintu kyange eky’omuwendo; era ndibasonyiwa ng’omuzadde bw’asonyiwa mutabani we amuweereza. 18 (F)Omulundi omulala mulyawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”

Abafiripi 1:18-26

18 Naye nze nfaayo ki? Kristo bw’abuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi.

Era nzija kweyongera okusanyuka. 19 (A)Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange. 20 (B)Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa. 21 (C)Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde. 22 Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ng’ekyo kibala ky’okufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo. 23 (D)Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi. 24 Naye okusigala mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe 25 Ekyo nkikakasa era nkimanyi nti nzija kuba nga nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okusanyuka n’okukula mu kukkiriza, 26 bwe ndikomawo gye muli mulyoke mweyongere okwenyumiririza mu Kristo ku lwange.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.