Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
EKITABO IV
Zabbuli 90–106
Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.
90 (A)Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
emirembe gyonna.
2 (B)Ensozi nga tezinnabaawo,
n’ensi yonna nga tonnagitonda;
okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 (C)Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
4 (D)Kubanga emyaka olukumi,
gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
oba ng’ekisisimuka mu kiro.
5 (E)Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
Ku makya baba ng’omuddo omuto.
6 (F)Ku makya guba munyirivu,
naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.
7 Ddala ddala obusungu bwo butumalawo,
n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
8 (G)Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go,
n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
9 (H)Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde;
tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10 (I)Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,
oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.
Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,
era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11 (J)Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo?
Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12 (K)Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
13 (L)Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 (M)Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 (N)Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 (O)Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.
24 (A)Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye,
ow’amaanyi owa Isirayiri nti,
“Ndifuka obusungu ku balabe bange,
era ne nesasuza abo abankyawa.
25 (B)Era ndikukwatamu n’omukono gwange,
ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna
ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.
26 (C)Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye
n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka.
Olwo olyoke oyitibwe
ekibuga eky’obutuukirivu,
ekibuga ekyesigwa.”
27 (D)Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya,
n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.
28 (E)Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu,
n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.
29 (F)“Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti
mwe mwenyumiririzanga,
n’olw’ennimiro
ze mweroboza.
30 Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotoka
era ng’ennimiro etaliimu mazzi.
31 (G)N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi,
n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda,
era byombi biriggiira wamu
so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”
Akabonero ka Yona
29 (A)Awo abantu bwe beeyongera okukuŋŋaana abangi, Yesu n’abayigiriza ng’agamba nti, “Omulembe guno mulembe mubi. Gunoonya akabonero, naye tegujja kukaweebwa okuggyako akabonero aka Yona. 30 Kubanga Yona nga bwe yali akabonero eri abantu b’e Nineeve, n’Omwana w’Omuntu, bw’ajja okuba eri ab’omulembe guno. 31 (B)Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, naye oyo asinga Sulemaani ali wano. 32 (C)Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona Naye laba asinga Yona ali wano.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.