Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ettabi Eririva ku Yese
11 (A)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
2 (B)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
3 (C)Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.
Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
4 (D)naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
5 (E)Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.
6 (F)Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;
era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;
era omwana omuto yalizirabirira.
7 Ente n’eddubu biririira wamu,
abaana baazo banaagalamiranga wamu.
Empologoma erirya omuddo ng’ente.
8 N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
9 (G)Tewalibeera kukolaganako bulabe
wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.
Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,
ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.
20 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 21 (A)“Mweyawuleko muve mu kibiina kino ndyoke nkizikirize embagirawo.”
22 (B)Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?”
23 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 24 “Muve okumpi n’eweema eza Koola ne Dasani ne Abiraamu.”
Ekibonerezo ky’Abajeemu
25 Awo Musa n’asituka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu, n’abakulembeze ba Isirayiri ne bagenda naye nga bamugoberera. 26 (C)N’agamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi n’eweema z’abasajja bano abakozi b’ebibi! Temukwata ku kintu kyabwe n’ekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olw’ebibi byabwe.” 27 Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi n’eweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’obwana bwabwe obuto. 28 (D)Awo Musa n’agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama Katonda y’antumye okukola ebintu bino byonna so tekubadde kutetenkanya kwange. 29 (E)Singa abasajja bano bafa olumbe olwa bulijjo, oba kugwibwako ebyo ebya bulijjo ebigwa ku bantu bonna, kinaaba kitegeeza nti Mukama si y’antumye. 30 (F)Naye singa Mukama Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira nga balamu n’ebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ng’abasajja abo banyoomodde Mukama Katonda.”
31 (G)Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri, 32 (H)ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna. 33 Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe. 34 Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”
35 (I)Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane.
23 (A)Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi. 24 (B)Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza. 25 Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti,
26 “ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti,
Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera
n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.
27 (C)Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye.
N’amatu gaabwe gazibikidde,
n’amaaso gaabwe gazibiridde.
Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe,
ne bawulira n’amatu gaabwe,
ne bategeera n’emitima gyabwe,
ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’
28 (D)“Noolwekyo mumanye nti obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”
29 Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.
30 Awo Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba ng’asula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era n’ayanirizanga buli eyajjanga okumulaba. 31 (E)N’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era n’ayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.