Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
2 (A)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
era afuuse obulokozi bwange.”
3 (B)Munaasenanga n’essanyu amazzi
okuva mu nzizi ez’obulokozi.
4 (C)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,
“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
5 (D)Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
6 (E)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”
Mukama anenya abali mu Mirembe
6 (A)Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni,
n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya.
Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze,
abantu ba Isirayiri gye beeyuna.
2 (B)Mugende mulabe e Kalune;
muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu,
ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi.
Basinga obwakabaka bwammwe obubiri?
Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?
3 (C)Mulindiriza olunaku olw’ekibi,
ate ne musembeza effugabbi.
4 (D)Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga
ne muwummulira mu ntebe ennyonvu
nga muvaabira ennyama y’endiga
n’ey’ennyana ensava.
5 (E)Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga,
ne muyiiya n’ennyimba ku bivuga.
6 (F)Mwekatankira wayini,
ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi,
naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.
7 Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse.
Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.
8 (G)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,
“Neetamiddwa amalala ga Yakobo,
nkyawa ebigo bye,
era nzija kuwaayo ekibuga
ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”
Okugaba kw’Abakristaayo
8 (A)Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa z’e Makedoniya. 2 Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo. 3 (B)Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira. 4 (C)Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu. 5 Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, n’oluvannyuma gye tuli olw’okwagala kwa Katonda. 6 (D)Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize n’ekikolwa ekyo eky’ekisa. 7 (E)Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.
8 (F)Sibawa kiragiro, wabula olw’okunyiikira kw’abalala n’okugezesa okwagala kwammwe nga kw’amazima. 9 (G)Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.
10 (H)Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako. 11 (I)Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina. 12 (J)Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.
13 Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana. 14 (K)Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga. 15 (L)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.