Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba olw’Essanyu
14 (A)Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 (B)Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
tokyaddayo kutya kabi konna.
16 (C)Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
“Totya, ggwe Sayuuni;
emikono gyo gireme okuddirira.
17 (D)Mukama Katonda ali naawe,
ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
alikusanyukira n’okuyimba.”
18 “Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga
ndigibaggyako;
kubanga kibafuukidde omugugu.
19 (E)Laba, mu biro ebyo ndibonereza
abo bonna abaakubonyaabonya:
era ndinunula omulema,
ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa;
era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa
mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 (F)Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya;
mu kiseera ekyo ndibazza eka.
Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo
mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna,
bwe ndikomyawo obugagga bwammwe
nga mulaba,”
bw’ayogera Mukama.
2 (A)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
era afuuse obulokozi bwange.”
3 (B)Munaasenanga n’essanyu amazzi
okuva mu nzizi ez’obulokozi.
4 (C)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,
“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
5 (D)Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
6 (E)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”
4 (A)Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga. 5 (B)Era mubeere n’okuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi. 6 (C)Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. 7 (D)N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.
7 (A)Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 8 (B)Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. 9 (C)Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”
10 (D)Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”
11 (E)Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”
12 (F)Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”
13 (G)Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”
14 (H)Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?”
Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”
15 (I)Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 16 (J)Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 17 (K)n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” 18 Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.