Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
113 (A)Mutendereze Mukama!
Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
mutendereze erinnya lya Mukama.
2 (B)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (C)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
4 (D)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
5 (E)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
6 (F)ne yeetoowaza
okutunuulira eggulu n’ensi?
7 (G)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
8 (H)n’abatuuza wamu n’abalangira,
awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
9 (I)Omukazi omugumba amuwa abaana,
n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.
Mutendereze Mukama!
Okuzaalibwa kwa Yakobo ne Esawu
19 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isaaka, mutabani wa Ibulayimu.
Ibulayimu yazaala Isaaka. 20 (A)Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.
21 (B)Isaaka n’asaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Mukama n’awulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto. 22 (C)Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.
23 (D)Mukama n’amuddamu nti,
“Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri,
abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo,
omu alibeera w’amaanyi okusinga munne,
era omukulu yaaliweereza omuto.”
24 Ennaku ez’okuzaala bwe zaatuuka, laba, n’azaala abalongo nga babulenzi. 25 (E)Eyasooka bwe yavaayo nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ng’ekyambalo eky’ebyoya. Kyebaava bamutuuma Esawu. 26 (F)Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.
Esawu Atunda eby’Obukulu Bwe
27 (G)Abalenzi ne bakula, Esawu n’aba muyizzi lukulwe, omuntu ow’oku ttale. Naye ye Yakobo yali musajja musirise ng’asigala waka. 28 (H)Isaaka n’ayagala Esawu kubanga yalyanga ku muyiggo gwe, naye Lebbeeka ye n’ayagala Yakobo.
Obulamu bwa Kristo
15 (A)Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. 16 (B)Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. 17 (C)Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa. 18 (D)Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna. 19 (E)Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye, 20 (F)era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.