Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 12:2-6

(A)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
    nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.”
(B)Munaasenanga n’essanyu amazzi
    okuva mu nzizi ez’obulokozi.

(C)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,

“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
    mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
    mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
(D)Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
    muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
(E)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
    kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

Amosi 8:4-12

(A)Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,
    era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,

(B)nga mwogera nti,

“Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi,
    tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke,
era ne Ssabbiiti eggwaako ddi,
    tutunde eŋŋaano yaffe?”
Mukozesa minzaani enkyamu
    ne mwongera emiwendo
    ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
(C)mmwe abagula abaavu n’effeeza
    n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto,
    ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.

(D)Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.

(E)“Ensi terikankana olw’ekyo,
    na buli abeeramu n’akungubaga?
Ensi yonna eritumbiira ng’omugga Kiyira
    n’ekka ng’amazzi
    ag’omugga gw’e Misiri bwe gakola.”

(F)Mukama Katonda agamba nti,

“Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu
    era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
10 (G)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
    era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
    n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
    era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.

11 (H)“Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
    “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna,
teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi,
    naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.
12 (I)Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala,
    bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo
nga banoonya ekigambo kya Mukama,
    naye tebalikifuna.

2 Abakkolinso 9

Okuyamba Bakristaayo bannaabwe

(A)Mmanyi bulungi nga tekinneetaagisa kubawandiikira ku nsonga y’okuweereza abatukuvu; (B)kubanga mmanyi nga bwe mwagala ennyo okuyamba, ne mikwano gyaffe wano mu Makedoniya nabategeezaako nga nnenyumiriza ku lwammwe nti ab’omu Akaya babadde beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita, era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi. (C)Nabatumira abooluganda okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere mu nsonga eyo, mube beetegefu nga bwe nagamba. (D)Si kulwa ng’ab’e Makedoniya bajja nange ne babasanga nga temwetegese, ne tuswala, ne bwe tutaboogerako nti ye mmwe, mu kubeesiga mmwe. (E)Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okubagumya abooluganda, bano babasookeyo, bateeketeeke ekirabo kye mwasuubiza, ekirabo ekyo kitegekebwe kibeere omukisa so si ekintu eky’okuwalirizibwa.

(F)Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.” (G)Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. (H)Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, (I)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Yasaasaanya, yagabira abaavu.
    Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”

10 (J)Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. 11 (K)Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

12 (L)Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda. 13 (M)Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna, 14 era n’okubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olw’ekisa kya Katonda eky’ekitalo kye mulina; 15 (N)Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.