Add parallel Print Page Options

23 (A)N’amubuuza nti, “Kiki ekikutwala gy’ali leero? Si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka wadde olwa Ssabbiiti.” Omukazi n’amuddamu nti, “Teweeraliikirira, kiri bulungi.”

Read full chapter

15 (A)Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere ey’empeke awamu ne wayini, n’emizabbibu, n’ettiini, n’emigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo. 16 (B)Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.

Read full chapter

(A)Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,
    era anyumirwa okukumpanya.

Read full chapter

10 (A)Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira,
    mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu,
    erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?
11 (B)Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,
    alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?

Read full chapter