Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
3 (A)Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye.
4 (B)Mugambe abo abalina omutima omuti nti,
Mubeere n’amaanyi temutya:
laba Katonda wammwe alijja;
alibalwanirira,
alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda,
era alibalokola.
5 (C)Olwo amaaso g’abazibe galiraba,
era n’amatu ga bakiggala galigguka;
6 (D)omulema alibuuka ng’ennangaazi,
n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.
Amazzi galifubutuka
ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
7 (E)N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba,
n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi.
Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo,
n’essaalu, n’ebitoogo.
Yesu ne Yokaana Omubatiza
18 (A)Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza ne bategeeza Yokaana ebintu ebyo byonna. Yokaana n’ayita abayigirizwa be babiri, 19 n’abatuma eri Mukama waffe okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo gwe tusuubira okujja, oba tulindirireyo omulala?”
20 Abayigirizwa ba Yokaana bwe baatuuka eri Yesu, ne bamutegeeza nti, “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, Ggwe wuuyo ajja oba tulindirirayo omulala?”
21 (B)Mu kiseera ekyo Yesu n’awonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: n’abalema, n’abaaliko emyoyo emibi, n’azibula n’abazibe b’amaaso. 22 (C)Abaatumibwa n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe b’amaaso bazibulwa amaaso ne balaba, n’abalema batambula, n’abagenge[a] balongoosebwa, n’abaggavu b’amatu gagguka ne bawulira, n’abafu bazuukizibwa, era n’abaavu babuulirwa Enjiri. 23 Era alina omukisa oyo atanneesittalako.”
24 Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu n’abuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. N’ababuuza nti, “Bwe mwagenda mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? 25 Naye mwagenderera kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambadde engoye ezinekaaneka, nga babeera mu bulamu bwa kikungu era babeera mu mbiri. 26 (D)Naye mwagenderera kulaba ki? Nnabbi? Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. 27 (E)Y’oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti,
“ ‘Laba, ntuma omubaka wange okukukulembera,
y’alikuteekerateekera ekkubo lyo mu maaso go.’ ”
28 (F)“Mbagamba nti, mu bantu bonna abaali bazaaliddwa abakazi, tewali mukulu wa kitiibwa kukira Yokaana, naye ate oyo asembayo mu bwakabaka bwa Katonda asinga Yokaana ekitiibwa.”
29 (G)Abantu bonna, awamu n’abasolooza b’omusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana. 30 (H)Naye Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.