Add parallel Print Page Options

18 (A)Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo,
    n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.

Read full chapter

19 (A)Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate,
    n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.

Read full chapter

(A)Olwo amaaso g’abazibe galiraba,
    era n’amatu ga bakiggala galigguka;

Read full chapter

(A)omulema alibuuka ng’ennangaazi,
    n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.
Amazzi galifubutuka
    ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.

Read full chapter

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
    kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
    antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
    n’abasibe bateebwe
    bave mu makomera.

Read full chapter

(A)Okulangirira omwaka gwa Mukama
    ogw’okulabiramu obulungi bwe;
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga
    era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.

Read full chapter

18 (A)“Omwoyo wa Mukama ali ku nze.
    Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri.
Antumye okubuulira abasibe okuteebwa,
    n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe,
n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,

Read full chapter