Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 148

148 Mutendereze Mukama!

Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
    mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
(A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
    mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
    nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
(B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
    naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

(C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
    Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
(D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
    n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

(E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
    mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
(F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
    naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
(G)mmwe agasozi n’obusozi,
    emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
    ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
    abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
    abantu abakulu n’abaana abato.

13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
    kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
    ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
    era agulumizizza abatukuvu be,
    be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

Mutendereze Mukama.

Isaaya 54:1-13

Ekitiibwa Kya Sayuuni eky’Oluvannyuma

54 (A)“Yimba ggwe omugumba
    atazaalanga;
tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala
    ggwe atalumwanga kuzaala.
Kubanga ggwe eyalekebwa
    ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,”
    bw’ayogera Mukama.
(B)“Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo,
tokwata mpola;
    nyweza enkondo zo.
(C)Kubanga olisaasaanira
    ku mukono gwo ogwa ddyo
    era n’ogwa kkono,
n’ezzadde lyo lirirya amawanga,
    era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.

(D)“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi.
    Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa.
Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo,
    n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
(E)Kubanga Omutonzi wo ye balo,
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo,
    Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.
(F)Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo,
    ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima;
omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,”
    bw’ayogera Katonda wo.
(G)“Nakulekako akaseera katono nnyo;
    naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
(H)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
    nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
    Omununuzi wo.

(I)“Kubanga gye ndi,
    bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa.
Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi,
    bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.
10 (J)Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo
    naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana
so n’endagaano yange ey’emirembe
    teriggyibwawo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.

Yerusaalemi eky’Ebiro Ebijja

11 (K)Mukama agamba nti,
    “Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe;
    laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi,
    emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.
12 Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu,
    n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo,
    ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.
13 (L)N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;
    n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.

Okubikkulirwa 21:1-7

Yerusaalemi Ekiggya

21 (A)Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo. (B)Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe. (C)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. (D)Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

(E)Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era n’aŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!”

(F)N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa. Buli awangula alifuna ebyo byonna ng’omugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.