Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 20

Benikadadi Alumba Samaliya

20 (A)Awo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna wamu ne bakabaka amakumi asatu mu babiri n’embalaasi n’amagaali gaabwe, bonna ne bambuka okuzingiza Samaliya n’okulwana nakyo. N’atuma ababaka mu kibuga eri Akabu kabaka wa Isirayiri ng’agamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Benikadadi nti, ‘Effeeza yo ne zaabu yo byange ate era ne bakyala bo abasinga obulungi n’abaana bo nabo bange.’ ”

Kabaka wa Isirayiri n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, mukama wange kabaka, nze ne bye nnina byonna bibyo.” Ababaka ne baddayo ewa Akabu nate ne bamugamba nti, “Kino Benikadadi ky’agamba nti, ‘Natuma nga njagala ffeeza yo ne zaabu yo, n’abakyala bo n’abaana bo. Naye olunaku lw’enkya essaawa nga zino nzija kuweereza abakungu bange banoonyeemu mu lubiri lwo ne mu nnyumba z’abakungu bo, era bajja kutwala ebibyo byonna eby’omuwendo.’ ”

(B)Awo kabaka wa Isirayiri n’ayita abakadde bonna ab’ensi, n’abagamba nti, “Mulabe omusajja ono bw’anoonya emitawaana! Bwe yatumya bakyala bange n’abaana bange wamu ne ffeeza yange ne zaabu yange, sabimumma.”

Abakadde n’abantu bonna ne bamuddamu nti, “Tomuwuliriza wadde okukkiriziganya naye.”

Awo kabaka n’addamu ababaka ba Benikadadi nti, “Mutegeeze mukama wange kabaka nti, ‘Omuddu wo nzija kukola byonna bye walagidde ku ntandikwa, naye kino eky’oluvannyuma siyinza kukikola.’ ”

10 (C)Awo Benikadadi n’aweereza obubaka obulala eri Akabu nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, enfuufu ya Samaliya bwe teebune mu bibatu by’abasajja bonna abangoberera.”

11 (D)Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Mumugambe nti, ‘Eyeesiba ebyokulwanyisa aleme okwenyumiriza ng’oyo abyesumulula.’ ”

12 (E)Benikadadi bwe yawulira obubaka obwo, ng’ali mu kutamiira ne bakabaka abalala mu weema zaabwe, n’alagira abasajja be nti, “Mweteeketeeke okulumba.” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga.

Akabu Awangula Benikadadi

13 (F)Mu kiseera ekyo ne wabaawo nnabbi eyajja eri Akabu kabaka wa Isirayiri n’alangirira nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olaba eggye lino eddene? Nzija kulikuwa mu mukono gwo leero, otegeere nga nze Mukama.’ ”

14 (G)Akabu n’abuuza nti, “Anakikola atya?” Nnabbi n’addamu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abavubuka bo ab’abaduumizi b’amasaza, bajja kukubeera.’ ”

Akabu ne yeeyongera okubuuza nti, “Ani anasooka okulumba?”

Nnabbi n’addamu nti, “Ggwe.”

15 Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000). 16 (H)Ne batabaala mu ttuntu nga Benikadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri be yali alagaanye nabo bali mu kutamiira. 17 Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza be baasooka okulumba.

Naye Benikadadi yali atumye ababaka okuketta, ne bamutegeeza nti, “Waliwo abasajja abajja nga bava Samaliya.”

18 N’ayogera nti, “Bwe baba bazze na mirembe, mubawambe, ne bwe baba nga baze ku lutalo, era mubawambe.” 19 Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza ne bafuluma ne balumba okuva mu kibuga, nga n’eggye libagoberera. 20 Buli omu ku bo n’atta gwe yayolekera. Abasuuli ne badduka, nga n’Abayisirayiri bwe babagoba, naye Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’awonera ku mbalaasi n’abamu ku basajjabe abeebagala embalaasi. 21 Awo kabaka wa Isirayiri n’abagobera ddala era n’awamba embalaasi n’amagaali, era Abasuuli bangi ne bafa.

22 (I)Awo ebyo nga biwedde, nnabbi n’agenda eri kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti, “Weenyweze, olabe ekiteekwa okukolebwa, kubanga omwaka ogunaddirira kabaka w’e Busuuli ajja kukulumba nate.” 23 (J)Mu kiseera ekyo, abakungu ba kabaka w’e Busuuli ne bamuwa amagezi nti, “Bakatonda b’Abayisirayiri bakatonda ba nsozi, era kyebavudde batusinza amaanyi. Naye bwe tunaabalwanyisizza mu lusenyi, mazima ddala tunaabasinza amaanyi. 24 Kola bw’oti, ggyawo bakabaka bonna mu bifo byabwe eby’okuduumira, osseewo abaduumizi abalala. 25 Oteekwa okufuna eggye ery’enkana liri lye wafiirwa, embalaasi edde mu kifo ky’embalaasi, n’eggaali mu kifo ky’eggaali, tulyoke tulwane nabo mu lusenyi, olwo tunaabasinzizza ddala amaanyi.” N’abawuliriza era n’akola bw’atyo.

26 (K)Omwaka ogwaddirira Benikadadi n’akuŋŋaanya Abasuuli, n’ayambuka mu Afeki okulwana ne Isirayiri. 27 (L)Awo abantu ba Isirayiri nabo ne bakuŋŋaana ne baweebwa entanda yaabwe, ne bagenda okubasisinkana. Abayisirayiri ne basiisira okuboolekera ne bafaanana ng’ebisibo bibiri ebitono eby’embuzi, naye Abasuuli ne babuna ensi yonna. 28 (M)Awo omusajja wa Katonda n’asembera, n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olw’okuba Abasuuli balowooza nga Mukama Katonda wa ku nsozi so si Katonda wa mu biwonvu, ndigabula eggye lino eddene mu mukono gwo, otegeere nga nze Mukama.’ ”

29 Ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omusanvu ne balumbagana. Abayisirayiri ne batta abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo kkumi mu lunaku lumu. 30 (N)Abalala ne baddukira mu kibuga Afeki, era eyo bbugwe w’ekibuga ekyo gye yagwira ku bantu emitwalo musanvu ku baali bawonyeewo.

Akabu Asaasira Benikadadi

Benikadadi naye nadduka ne yeekweka mu kibuga mu kimu ku bisenge eby’omunda. 31 (O)Abakungu be ne bamugamba nti, “Laba, tuwulidde nti bakabaka b’ennyumba ya Isirayiri, ba kisa, twesibe ebibukutu mu biwato byaffe, tuzingirire emige ku mitwe gyaffe tugende ewa kabaka wa Isirayiri, oboolyawo anaakusaasira.”

32 Ne beesiba ebibukutu mu biwato byabwe, ne bazingirira emige ku mitwe gyabwe, ne balaga ewa kabaka wa Isirayiri, ne bamugamba nti, “Omuddu wo Benikadadi agamba nti, ‘Nkwegayiridde tonzita.’ ” Kabaka n’ababuuza nti, “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.”

33 Abasajja ne balowooza nti ako kabonero kalungi, era ne banguwa okwogera nti, “Weewaawo, muganda wo Benikadadi.” Kabaka n’ayogera nti, “Mugende mumuleete.” Benikadadi bwe yavaayo, Akabu n’amuleetera mu gaali lye.

34 (P)Awo Benikadadi n’agamba nti, “Ndikuddiza ebibuga kitange bye yawamba ku kitaawo, era olyessizaawo obutale obubwo ggwe mu Ddamasiko, nga kitange bwe yakola mu Samaliya.” Akabu n’addamu nti, “Nzija kukuleka ogende nga tukoze endagaano.” Era ne bakola endagaano, n’amuleka n’agenda.

Nnabbi Anenya Akabu

35 (Q)Omu ku batabani ba bannabbi n’agamba munne nti, “Katonda alagidde onfumite n’ekyokulwanyisa kyo,” naye munne oyo n’agaana.

36 (R)Mutabani wa nnabbi n’ayogera nti, “Olw’obutagondera ddoboozi lya Mukama, bw’onooba wakava wano, empologoma eneekutta.” Awo bwe baali kyebajje baawukane, n’asanga empologoma era n’emutta.

37 Mutabani wa nnabbi n’asanga omusajja omulala, n’amugamba nti, “Nfumita, nkwegayiridde.” Omusajja n’amufumita n’amuleetako ekiwundu. 38 Awo n’agenda n’alindirira kabaka mu kkubo, ne yeebuzaabuza ng’abisse ekiremba kye ku maaso ge. 39 (S)Kabaka bwe yali ng’ayitawo, mutabani wa nnabbi n’amukoowoola ng’agamba nti, “Omuddu wo yagenze wakati mu lutalo, ne wabaawo omuserikale eyandetedde omusibe n’aŋŋamba nti, ‘Kuuma omusajja ono. Bw’anaabula ggw’onottibwa mu kifo kye, oba si kyo oteekwa okusasula kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza.’ 40 Omuddu wo bwe yali ng’atawaana erudda n’erudda, laba omusajja n’abula.”

Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Ogwo musango gwo, era ogwesalidde.”

41 Awo mutabani wa nnabbi n’ayanguwa, okuggya ekiremba ku maaso ge, kabaka wa Isirayiri n’amutegeera nga y’omu ku bannabbi. 42 (T)N’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Otadde omusajja gwe namaliridde okutta. Noolwekyo ggw’ojja okufa mu kifo kye, n’abantu bo bafe mu kifo ky’abantu be.’ ” 43 (U)Kabaka wa Isirayiri n’alaga mu lubiri lwe e Samaliya ng’aswakidde era nga munyiivu.

1 Basessaloniika 3

(A)Oluvannyuma nga tetukyayinza kugumiikiriza ne tusalawo okusigala ffekka mu Asene. Ne tutuma Timoseewo, muganda waffe era muweereza munnaffe mu mulimu gwa Katonda, mu Njiri ya Kristo, abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe, (B)waleme okubaawo n’omu aterebuka olw’okuyigganyizibwa kwe mwalimu. Mmwe mwennyini mumanyi nti ekyo kye twayitirwa. (C)Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi. (D)Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere.

Lipoota ya Timoseewo ezzaamu amaanyi

(E)Naye kaakano Timoseewo bw’akomyewo ng’ava gye muli atuleetedde amawulire amalungi ag’okukkiriza kwammwe n’okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako. Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi. (F)Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu. (G)Kale Katonda tumwebaze tutya olw’essanyu eritujjudde ku lwammwe olw’essanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe? 10 (H)Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.

11 Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli. 12 (I)Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, 13 (J)alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.

Danyeri 2

Ekirooto kya Nebukadduneeza

(A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza, Nebukadduneeza n’aloota ekirooto; ne yeeraliikirira nnyo, n’otulo ne tumubula. (B)Awo kabaka n’atumya abasawo, n’abafumu, n’abalaguzi n’Abakaludaaya okumutegeeza ekirooto kye yaloota. Ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka. (C)N’abagamba nti, “Naloota ekirooto ekimbuzizza otulo, njagala mukintegeeze n’amakulu gaakyo.”

(D)Awo Abakaludaaya ne baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, owangaale emirembe gyonna! Buulira abaddu bo ekirooto, nabo banaakunnyonnyola amakulu gaakyo.”

(E)Kabaka n’addamu Abakaludaaya nti, “Kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto ekyo, n’amakulu gaakyo, nzija kulagira mutemebwetemebwe, era n’amayumba gammwe gamenyebwemenyebwe. (F)Kyokka bwe munaantegeeza ekirooto n’amakulu gaakyo, nnaabawa ebirabo, n’empeera, n’ekitiibwa kinene. Noolwekyo mumbuulire ekirooto n’amakulu gaakyo.”

Ne bamuddamu nate nti, “Tubuulire ekirooto kyo, tusobole okukubuulira amakulu gaakyo.”

Awo kabaka n’addamu nti, “Ntegeeredde ddala nga mwagala kufuna bbanga ddene, kubanga mutegedde nga kye nsazeewo mmaliridde okukikola, (G)era bwe mutantegeeze kirooto, ekibonerezo kiri kimu kyokka. Mwekobaanye okunnimba n’okumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, munnyinnyonnyole n’amakulu gaakyo.”

10 (H)Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu n’omu ku nsi ayinza okukola kabaka ky’asaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bw’aba w’amaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ng’ekyo. 11 (I)Kabaka ky’asaba kizibu nnyo. Tewali n’omu ayinza kukibikkulira kabaka, wabula bakatonda abatalina mubiri ogwa bulijjo.”

12 (J)Ekigambo ekyo ne kisunguwaza nnyo kabaka, kyeyava alagira abagezigezi bonna mu Babulooni okuttibwa. 13 (K)Ekiragiro ne kiyita okutta abagezigezi bonna, era ne wabaawo abasajja abaatumibwa okunoonya Danyeri ne mikwano gye okubatta.

14 Awo Danyeri n’asisinkana Aliyooki omuduumizi w’abakuumi ba kabaka, bwe yali ng’agenda okutta abagezigezi ab’e Babulooni; n’ayogera naye mu magezi n’obukalabakalaba, 15 n’amubuuza nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro eky’obukambwe bwe kityo?” Aliyooki n’annyonnyola Danyeri ensonga eyavaako ekyo. 16 Awo Danyeri n’alaga eri kabaka, n’asaba aweebwe ekiseera okwogera ne kabaka, alyoke amutegeeze amakulu g’ekirooto.

17 (L)Awo Danyeri n’addayo ewuwe, n’ategeeza mikwano gye Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya, 18 (M)n’abagamba basabe Katonda ow’eggulu abalage ekisa ababikkulire amakulu ag’ekyama ekyo, ye ne banne baleme kuzikirizibwa wamu n’abagezigezi abalala ab’e Babulooni. 19 (N)Mu kiro ekyo Danyeri n’afuna okwolesebwa ku kigambo ekyo, n’atendereza Katonda ow’eggulu. 20 (O)N’ayogera nti,

“Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe n’emirembe,
    kubanga amagezi n’obuyinza bibye.
21 (P)Ategeera ebiseera n’ebiro;
    assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka;
awa amagezi abagezigezi,
    era n’okumanyisa abo abategeevu.
22 (Q)Abikkula ebyama ebyakisibwa edda;
    amanyi ebifa mu nzikiza,
    n’ekitangaala kibeera naye.
23 (R)Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange
    ompadde amagezi n’amaanyi,
ombikkulidde ekyo kye twakusabye,
    otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”

Danyeri Ategeeza Amakulu ag’Ekirooto

24 (S)Awo Danyeri n’alaga eri Aliyooki, kabaka gwe yali alonze okuzikiriza abasajja abagezigezi aba Babulooni, n’amugamba nti, “Tozikiriza basajja bagezigezi ba Babulooni. Ntwala eri kabaka mmutegeeze amakulu g’ekirooto kye.”

25 (T)Amangwago, Aliyooki n’atwala Danyeri eri kabaka, n’ategeeza kabaka nti, “Nsanze omusajja, omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, asobola okutegeeza kabaka amakulu g’ekirooto kye.”

26 (U)Kabaka n’abuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, “Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, n’amakulu gaakyo?”

27 (V)Danyeri n’addamu kabaka nti, “Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye. 28 (W)Waliwo Katonda ow’omu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ez’enkomerero. Ekirooto n’okwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.

29 “Bwe wali ng’ogalamidde mu kitanda kyo, ayi kabaka omutima gwo ne gutandika okulowooza ku bintu ebiribaawo, era oyo abikkula ebigambo ebitategeerekeka bantu abaabulijjo, yakulaze ebigenda okubaawo. 30 (X)Naye ekigambo kino ekitategeerekeka bantu abaabulijjo kimbikkuliddwa, si lwa kuba nga ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna, naye nkifunye bwe ntyo, kabaka ategeere amakulu gaakyo, era otegeere ebirowoozo bye wafuna mu mutima gwo.

31 (Y)“Watunula, ayi kabaka, era laba, mu maaso go nga wayimiriddewo ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo kyali kinene nnyo, nga kimasamasa nnyo nnyini era nga kya ntiisa. 32 Omutwe gwakyo gwali gwa zaabu ennongoose, ekifuba kyakyo n’emikono gyakyo nga bya ffeeza, n’olubuto lwakyo n’ebisambi byakyo nga bya kikomo, 33 n’amagulu gaakyo nga ga kyuma. N’ebigere byakyo ekitundu ekimu kyali kya kyuma, n’ekitundu ekirala nga kya bbumba. 34 (Z)Awo bwe wali ng’okyakitunuulira, olwazi ne lutemebwa, naye si na ngalo, ejjinja ne livaako ne likuba ekifaananyi ku bigere byakyo eby’ekyuma n’ebbumba, ne libyasaayasa. 35 (AA)Ekyuma n’ebbumba, n’ekikomo, ne zaabu, byonna ne biyasibwayasibwa wamu, ne bifuuka ng’ebisusunku eby’omu gguuliro mu biro eby’omusana omungi; kibuyaga n’abifuuwa obutalekaawo na kimu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lujjula ensi yonna.

36 “Ekyo kye kyali ekirooto; kaakano tunaategeeza kabaka amakulu gaakyo. 37 (AB)Ggwe, ayi kabaka, ggwe kabaka wa bakabaka, Katonda ow’eggulu gwe yawa obwakabaka, n’obuyinza, n’amaanyi, n’ekitiibwa; 38 (AC)era akukwasizza abantu n’ensolo ez’omu nsiko, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu.

39 “Bw’olivaawo, obwakabaka obulala buliddawo, obutenkanankana bubwo. N’oluvannyuma waliddawo obwakabaka obwokusatu nga bwa kikomo obulifuga ensi yonna. 40 (AD)Oluvannyuma lw’ebyo byonna waliddawo obwakabaka obwokuna obuliba obw’amaanyi ng’ekyuma; era ng’ekyuma ekimenyaamenya ne kibetentabetenta buli kintu, era ng’ekyuma bwe kimenyaamenya obutundutundu, bwe kityo bwe kiribetentabetenta ne kimenyaamenya obwakabaka obulala bwonna. 41 Nga bwe walaba ebigere n’obugere ekitundu nga kya bbumba ery’omubumbi, n’ekitundu nga kya kyuma, bwe butyo obwakabaka bwe buligabanyizibwamu; ate nga bulisigala n’amaanyi ag’ekyuma, nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba. 42 Ng’obugere bwe bwali, ekitundu nga kya kyuma n’ekitundu ekirala nga kya bbumba, n’obwakabaka buno buliba bwe butyo, ekitundu ekimu nga ky’amaanyi n’ekitundu ekirala nga kinafu. 43 Era nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba bwe batyo n’abantu bwe baliba so tebalisigala bumu, ng’ekyuma bwe kitasobola kwetabula bulungi na bbumba.

44 (AE)“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna. 45 (AF)Gano ge makulu ag’okwolesebwa okukwata ku jjinja eryatemebwa mu lusozi, eritatemebwa na ngalo za muntu; eryabetentabetenta ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu.

“Katonda omukulu abikkulidde kabaka ebigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso. Ekirooto kituufu n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”

46 (AG)Awo Kabaka Nebukadduneeza ne yeeyaliira ku lubuto lwe mu maaso ga Danyeri n’amuwa ekitiibwa, n’alagira okuwaayo obubaane n’ebiweebwayo eri Danyeri. 47 (AH)Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era ye Mukama wa bakabaka, era omubikkuzi w’ebyama ebyakisibwa, kubanga osobozebbwa okututegeeza ekyama ekyakisibwa.”

48 (AI)Awo kabaka n’akuza Danyeri n’amufuula omuntu omukulu ennyo, n’amuwa n’ebirabo bingi. N’amufuula mufuzi w’essaza lyonna erya Babulooni, n’amuwa n’obuvunaanyizibwa obw’okukulira abasajja abagezigezi bonna ab’e Babulooni. 49 (AJ)Awo Danyeri n’asaba kabaka akuze ne Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego; kabaka n’abafuula abakulembeze n’abawa ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu ssaza ery’e Babulooni, Danyeri ye n’asigala awali kabaka.

Zabbuli 106

106 (A)Mumutendereze Mukama!

Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.

(B)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
    oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
(C)Balina omukisa abalina obwenkanya,
    era abakola ebituufu bulijjo.

(D)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
    nange onnyambe bw’olibalokola,
(E)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
    nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
    era ntendererezenga mu bantu bo.

(F)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
    tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
(G)Bakadde baffe
    tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
    bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
(H)Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
    alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
(I)Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
    n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 (J)Yabawonya abalabe baabwe;
    n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 (K)Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
    ne wataba n’omu awona.
12 (L)Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
    ne bayimba nga bamutendereza.

13 (M)Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
    ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 (N)Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
    ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 (O)Bw’atyo n’abawa kye baasaba,
    kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.

16 (P)Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
    ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 (Q)Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;
    Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 (R)Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
    ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 (S)Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
    ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 (T)Ekitiibwa kya Katonda
    ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 (U)Ne beerabira Katonda eyabanunula,
    eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 (V)ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
    n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 (W)N’agamba nti,
    Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
    n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.

24 (X)Baanyooma eby’ensi ennungi,
    kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25 (Y)Beemulugunyiriza mu weema zaabwe,
    ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26 (Z)Kyeyava yeerayirira
    nti alibazikiririza mu ddungu,
27 (AA)era nga n’abaana baabwe
    balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.

28 (AB)Baatandika okusinza Baali e Peoli;
    ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29 Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
    kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 (AC)Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,
    kawumpuli n’agenda.
31 (AD)Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu
    emirembe gyonna.
32 (AE)Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
    ne baleetera Musa emitawaana;
33 (AF)kubanga baajeemera ebiragiro bye,
    ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.

34 (AG)Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
    nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 (AH)naye beetabika n’abannaggwanga ago
    ne bayiga empisa zaabwe.
36 (AI)Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
    ne bibafuukira omutego.
37 (AJ)Baawaayo batabani baabwe
    ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 (AK)Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
    abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
    ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 (AL)Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
    ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

40 (AM)Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
    n’akyawa ezzadde lye.
41 (AN)N’abawaayo eri amawanga amalala,
    abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
    ne babatuntuza nnyo ddala.
43 (AO)Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
    naye obujeemu ne bubalemeramu,
    ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.

44 (AP)Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
    n’abakwatirwa ekisa;
45 (AQ)ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
    okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 (AR)N’abaleetera okusaasirwa
    abo abaabawambanga.
47 (AS)Ayi Mukama Katonda,
    otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
    era tusanyukenga nga tukutendereza.

48 (AT)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
    emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”

Mumutendereze Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.