M’Cheyne Bible Reading Plan
Mukama Alabikira Sulemaani
9 (A)Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe, n’okuzimba ebyo byonna bye yasiima, 2 (B)Mukama n’amulabikira omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni. 3 (C)Mukama n’amugamba nti,
“Mpulidde okusaba n’okwegayirira kw’owaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gy’ozimbye, n’erinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo.
4 (D)“Naawe bw’onootambuliranga mu maaso gange n’omutima ogw’amazima n’obugolokofu, nga Dawudi kitaawo bwe yakola, era n’okolanga bye nkulagira byonna, n’okwatanga amateeka gange, 5 (E)nnaanyweza entebe yo ey’obwakabaka mu Isirayiri emirembe gyonna, nga bwe nasuubiza Dawudi kitaawo bwe n’ayogera nti, ‘Tolirema kuba na musajja ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri.’
6 (F)“Naye ggwe oba batabani bo bwe munanjeemeranga ne mutakwatanga biragiro byange n’amateeka ge mbawadde, ne mutanula okuweereza bakatonda abalala, 7 (G)kale ndiggya ku Isirayiri ensi gye mbawadde era ne yeekaalu gye ntukuzizza n’erinnya lyange ndigireka. Olwo Isirayiri erifuuka eky’okunyoomoolwa n’ekyokusekererwa mu mawanga gonna. 8 (H)Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ 9 Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, n’okubasinza ne babasinza era n’okubaweereza ne babaweereza. Mukama kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ”
Ebintu Ebirala Sulemaani bye Yakola
10 Ku nkomerero y’emyaka amakumi abiri, mu kiseera Sulemaani mwe yazimbira ebizimbe byombi, eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe olw’obwakabaka, 11 (I)Kabaka Sulemaani yagabira Kiramu kabaka w’e Ttuulo ebibuga amakumi abiri, olw’emivule, n’emiberosi ne zaabu bye yaweereza Sulemaani. 12 Naye Kiramu bwe yava e Ttuulo n’agenda okulambula ebibuga Sulemaani bye yamugabira, ne bitamusanyusa. 13 (J)N’amubuuza nti, “Bino bibuga bya ngeri ki by’ompadde muganda wange?” N’abituuma erinnya Kabuli, era bwe biyitibwa n’okutuusa olunaku lwa leero. 14 Kiramu yali aweerezza kabaka ttani nnya eza zaabu.
15 (K)Kabaka Sulemaani mu buyinza bwe n’amaanyi ge, yakuŋŋaanya abasajja ab’amaanyi bangi okuzimba yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe, n’obusenge obuwagika bbugwe wa Yerusaalemi, n’ebibuga ebya Kazoli, ne Megiddo ne Gezeri. 16 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri yali atabadde, n’okuwamba n’awamba Gezeri, n’akireka ng’akikumyeko omuliro, ng’asse Abakanani abaakibeerangamu. Ekifo ekyo n’akigabira muwala we, muka Sulemaani ng’ekirabo ku mbaga yaabwe. 17 (L)Awo Sulemaani n’akizimba buggya; n’azimba ne Besukolooni ekya wansi, 18 (M)Baalasi ne Tamali mu ddungu, 19 (N)n’ebibuga eby’amawanika, n’omwakuumirwanga amagaali, n’abeebagala embalaasi ze, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yafuganga.
20 Abantu bonna abaasigalawo ku Bamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi, abataali Bayisirayiri, 21 (O)Abayisirayiri be bataayinza kuzikiririza ddala, Sulemaani n’abafuula baddu, n’okutuusa leero. 22 (P)Naye teyafuula Muyisirayiri n’omu muddu, wabula bo baali nga balwanyi be, na bakungu be, na baami be, na baduumizi b’amagaali na beebagazi ba mbalaasi ze. 23 (Q)Era be baali nga abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gye gyonna, era abo bonna abaavunaanyizibwanga emirimu egyo, awamu nga bawera abakungu ebikumi bitaano mu ataano.
24 (R)Awo muwala wa Falaawo bwe yava mu kibuga kya Dawudi n’agenda mu lubiri Sulemaani lwe yamuzimbira, Sulemaani n’azimba obusenge obuwagika bbugwe.
25 (S)Sulemaani yawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, emirundi esatu[a] mu mwaka, ng’ayotereza obubaane mu maaso ga Mukama, ng’atuukiriza obulombolombo bwa yeekaalu.
26 (T)Kabaka Sulemaani yazimba n’ebyombo mu Eziyonigeba[b] okuliraana Erosi mu Edomu, ku lubalama lw’ennyanja Emyufu. 27 (U)Kiramu n’aweereza abasajja be abalunnyanja okukoleranga awamu n’aba Sulemaani. 28 (V)Ne baseeyeeya okutuuka mu Ofiri[c], ne baleeta ttani kkumi na nnya eza zaabu eri Sulemaani.
Abazadde n’abaana baabwe
6 (A)Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. 2 “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: 3 (B)Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi. 4 (C)Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.
Abaddu ne bakama baabwe
5 (D)Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ng’omutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo. 6 Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula mukolenga ng’abaddu ba Kristo nga mukola n’omutima gwammwe gwonna, nga Katonda bw’ayagala. 7 (E)Muweerezenga n’omutima omulungi ng’abakolera Mukama waffe so si ng’abakolera abantu, 8 (F)nga mumanyi ng’ekirungi kyonna omuntu ky’akola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi. 9 (G)Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.
Ebyokulwanyisa bya Katonda
10 (H)Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 11 (I)Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 12 (J)Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13 Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 14 (K)Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 15 (L)nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 16 (M)Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 17 (N)Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo, 18 (O)nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.
19 (P)Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri. 20 Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.
21 (Q)Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe, alibategeeza byonna mulyoke mutegeere ebinfaako ne bye nkola. 22 (R)Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye nga bwe tuli era abagumye emitima gyammwe.
23 (S)Emirembe n’okwagala awamu n’okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga n’abooluganda.
24 Ekisa kya Katonda kibeerenga n’abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo n’okwagala okutaggwaawo.
39 (A)“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi ku Googi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali. 2 Ndikukyusa nkukulule, era ndikuggya mu bukiikakkono obw’ewala ne nkutuma eri ensozi za Isirayiri. 3 (B)Ndiggya omutego gwo mu mukono gwo ogwa kkono; n’obusaale bwo obungi obubadde mu mukono gwo ogwa ddyo, ndibukusuuza. 4 (C)Oligwa ku nsozi za Isirayiri ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali naawe; ndibawaayo eri ensega eza buli ngeri n’eri buli nsolo enkambwe mufuuke emmere yaazo. 5 Muligwa ku ttale, kubanga nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda. 6 (D)Ndisindika omuliro ku Magogi ne ku abo ababeera mu bifo ebirimu emirembe ku lubalama lw’ennyanja; balyoke bamanye nga nze Mukama.
7 (E)“ ‘Ndimanyisa abantu bange Isirayiri Erinnya lyange ettukuvu. Siriganya linnya lyange kuddayo kuvumibwa, era amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isirayiri. 8 Ekiseera kyakyo kituuse era kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda. Luno lwe lunaku lwe nayogerako.
9 (F)“ ‘Abo ababeera mu bibuga bya Isirayiri balifuluma ne bakozesa ebyokulwanyisa ng’enku era balibikumako omuliro, engabo entono n’engabo ennene, emitego n’obusaale n’ebiti ebinene n’amafumu. Balibikozesa ng’enku okumala emyaka musanvu. 10 (G)Tekiribeetaagisa kutyaba nku ku ttale so tebalitema nku mu bibira, kubanga ebyokulwanyisa bye balikozesa ng’enku. Balinyaga abo abaabanyaga, ne babba abo abaababba, bw’ayogera Mukama Katonda.
11 (H)“ ‘Ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky’okuziikamu mu Isirayiri mu kiwonvu ky’abatambuze ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Nnyanja ey’Omunnyo.[a] Kiriziba ekkubo ly’abatambuze, kubanga Googi n’enkuyanja y’abantu be baliziikibwa eyo. Era kiriyitibwa ekiwonvu kya Kamonugoogi.
12 (I)“ ‘Ennyumba ya Isirayiri balimala emyezi musanvu nga babaziika, okusobola okutukuza ensi. 13 (J)Abantu bonna ab’omu nsi balibaziika, era luliba lunaku lwa kujjukiranga era lwe lunaku lwe ndigulumizibwa, bw’ayogera Mukama Katonda. 14 Wanaabangawo abasajja abanaapangisibwanga okukola omulimu ogw’okutukuza ensi. Abamu ku bo banaayitanga mu nsi nga bakola omulimu ogwo, n’abalala banaaziikanga emirambo gy’abo egirisigala kungulu.
“ ‘Oluvannyuma olw’emyezi omusanvu balitandika okunoonya abaafa. 15 Bwe baliba nga bayita mu nsi, omu n’alaba eggumba ly’omuntu, aliteeka akabonero mu kifo ekyo, okutuusa abaziika bwe baliba bayita ne balaba akabonero ne baliziika mu kiwonvu kya Kamonugoogi. 16 (Era ne mu kifo ekyo eribaayo ekibuga ekiyitibwa Kamona). Bwe batyo bwe balitukuza ensi.’
17 (K)“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Koowoola buli kika ky’ennyonyi n’ebisolo byonna ebikambwe obigambe nti, ‘Mukuŋŋaane, mujje okuva mu njuyi zonna eri ssaddaaka gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isirayiri, mulye ennyama munywe n’omusaayi. 18 (L)Mulirya ennyama ey’abalwanyi ab’amaanyi, era mulinywa omusaayi gw’abalangira ab’ensi, ng’abanywa ogw’endiga ennume n’obuliga obuto, ogw’embuzi n’ente ziseddume, zonna ensava ez’e Basani. 19 Mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira ku ssaddaaka yange gye mbategekera. 20 (M)Ku mmeeza yange mulirya embalaasi n’abazeebagala, wamu n’abalwanyi ab’amaanyi n’abasajja abaserikale aba buli kika,’ bw’ayogera Mukama Katonda.
21 (N)“Ndyoleka ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, nga n’omukono gwange gubateekeddwaako. 22 Okuva ku lunaku olwo, ennyumba ya Isirayiri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe. 23 (O)N’amawanga galimanya ng’abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ebibi byabwe, kubanga tebaali beesigwa gye ndi. Kyenava mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, bonna ne battibwa ekitala. 24 (P)Nababonereza ng’obutali butuukirivu bwabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali, ne mbakisa amaaso gange.
25 (Q)“Noolwekyo Mukama Katonda ayogera nti, Ndikomyawo Yakobo okuva mu buwaŋŋanguse, era ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Isirayiri yonna, era ndirwanirira erinnya lyange ettukuvu. 26 (R)Balyerabira okuswazibwa kwabwe, n’obutali bwesigwa bwe bandaga, bwe baabeera mu nsi yaabwe emirembe, nga tebaliiko abatiisa. 27 (S)Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga, nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez’abalabe baabwe, ndyoleka obutukuvu bwange mu bo eri amawanga mangi. 28 Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, kubanga nabasindika mu buwaŋŋanguse mu mawanga, ate ne mbakuŋŋaanya eri ensi yaabwe, ne sirekaayo n’omu. 29 (T)Siribakisa maaso gange nate, bwe ndifuka Omwoyo wange ku nnyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.”
EKITABO IV
Zabbuli 90–106
Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.
90 (A)Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
emirembe gyonna.
2 (B)Ensozi nga tezinnabaawo,
n’ensi yonna nga tonnagitonda;
okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 (C)Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
4 (D)Kubanga emyaka olukumi,
gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
oba ng’ekisisimuka mu kiro.
5 (E)Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
Ku makya baba ng’omuddo omuto.
6 (F)Ku makya guba munyirivu,
naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.
7 Ddala ddala obusungu bwo butumalawo,
n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
8 (G)Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go,
n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
9 (H)Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde;
tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10 (I)Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,
oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.
Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,
era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11 (J)Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo?
Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12 (K)Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
13 (L)Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 (M)Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 (N)Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 (O)Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.