M’Cheyne Bible Reading Plan
Sulemaani Asaba Amagezi
3 (A)Awo Sulemaani n’akola endagaano ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri era n’awasa muwala we. N’amuleeta mu kibuga kya Dawudi okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye n’ennyumba ya Mukama, era ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi. 2 (B)Kyokka ennyumba ya Mukama yali tenazimbibwa, abantu nga baweerayo ssaddaaka mu bifo eby’enjawulo. 3 (C)Sulemaani n’ayagala Mukama, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe, newaakubadde nga yaweerangayo ssaddaaka era ng’ayotereza n’obubaane ku bifo ebigulumivu.
4 (D)Awo kabaka n’agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekikulu mu byonna, era Sulemaani n’aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi. 5 (E)Mukama n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, “Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa.”
6 (F)Sulemaani n’addamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero. 7 (G)Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange. 8 (H)Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika. 9 (I)Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?”
10 Mukama n’asanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo. 11 (J)Katonda n’amugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango, 12 (K)n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana. 13 (L)Era ndikuwa, ne by’otosabye: obugagga n’ekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo. 14 (M)Era bw’onootambuliranga mu makubo gange, n’okukwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yakola, ndyongera ku nnaku zo.” 15 (N)Awo Sulemaani n’azuukuka n’amanya nga kibadde kirooto.
N’akomawo e Yerusaalemi, n’ayimirira mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, era n’agabula abaweereza be ekijjulo.
Sulemaani Asala Omusango Omuzibu
16 Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge. 17 Omu ku bo n’amugamba nti, “Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali. 18 Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye n’azaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu n’omu eyali naffe mu nnyumba.
19 “Awo mu kiro omukazi ono, ne yeebakira omwana we n’amutta. 20 N’agolokoka ekiro mu ttumbi n’aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, n’amuteeka mu kifuba kye, ate n’addira owuwe afudde n’amussa mu kifuba kyange. 21 Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe n’amwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala.”
22 Omukazi oli omulala n’agamba nti, “Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo.”
Naye ow’olubereberye n’aggumiza nti, “Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange.” Ne bawakanira mu maaso ga kabaka.
23 Kabaka n’agamba nti, “Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ n’omulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu.’ ”
24 Awo kabaka n’agamba nti, “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala. 25 N’alyoka alagira nti, “Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala.”
26 (O)Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli n’agamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!”
27 Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, “Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina.”
28 (P)Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.
1 (A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, olw’okwagala kwa Katonda, mpandiikira abatukuvu abali mu Efeso, era abakkiririza mu Kristo Yesu.
2 (B)Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
Emikisa mu Kristo
3 (C)Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogw’omwoyo oguva mu ggulu. 4 (D)Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe. 5 (E)Olw’okwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ng’okusiima kwe bwe kuli. 6 (F)Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo. 7 (G)Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli, 8 kye yatuwa mu bungi mu magezi gonna ne mu kutegeera kwonna. 9 (H)Yatubikkulira ekyama eky’okwagala kwe, ng’okusiima kwe bwe kuli kwe yateekerateekera mu Kristo. 10 (I)Olwo ekiseera ekituufu bwe kirituuka, Katonda alikola byonna bye yateekateeka, n’ateeka ebintu byonna awamu wansi wa Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.
11 (J)Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ng’enteekateeka bw’eri ey’oyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi ag’okwagala kwe; 12 (K)ffe Abayudaaya tulyoke tumuleetere okugulumizibwa, ffe abaasooka okuba n’essuubi mu Kristo. 13 (L)Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa, 14 (M)gwe musingo gw’obusika bwaffe, okutuusa bw’alinunula abantu be, ne Katonda n’agulumizibwa era n’atenderezebwa.
Okusaba kwa Pawulo
15 (N)Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, 16 (O)sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira 17 (P)ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera. 18 (Q)Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna. 19 (R)Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli, 20 (S)amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. 21 (T)Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. 22 (U)Katonda atadde ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’afuula Kristo omutwe gw’ebintu byonna eby’ekkanisa, 23 era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.
Abasumba n’Endiga
34 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri abasumba ba Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isirayiri abeefaako bokka. Abasumba tebasaanye kuliisa ndiga? 3 (B)Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye temufaayo ku bisibo. 4 (C)Ennafu temuzizzaamu maanyi, so n’endwadde temuzijjanjabye, so n’ezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so n’ezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze n’amaanyi. 5 (D)Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ez’omu nsiko. 6 (E)Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.
7 “ ‘Noolwekyo mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama: 8 Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, olw’endiga zange okufuuka omuyiggo, n’ekyokulya eri ensolo enkambwe zonna, kubanga tezirina musumba, ate era n’abasumba ne batazinoonya, naye ne beefaako bokka, ne bataliisa ndiga zange, 9 kale mmwe abasumba muwulire ekigambo kya Mukama. 10 (F)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnina ensonga ku basumba, era ndibavunaana olw’ekisibo kyange. Ndibaggyako okulabirira endiga mulekeraawo okuzifuula ekyokulya. Ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe, zireme okuba ekyokulya kyabwe.
11 “ ‘Era bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndinoonya endiga zange ne nzirabirira. 12 (G)Ng’omusumba bw’alabirira ekisibo kye ng’ezimu ku ndiga zisaasaanye okumuvaako, bwe ntyo bwe ndizirabirira. Ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire olw’ekizikiza. 13 (H)Ndiziggya mu mawanga ne nzikuŋŋaanya mu nsi gye zaasaasaanira ne nzikomyawo mu nsi yaazo. Ndiziriisiza ku nsozi za Isirayiri okumpi n’enzizi ne mu bifo byonna ebibeerwamu mu nsi. 14 (I)Ndizirabiririra mu ddundiro eddungi ne ku ntikko z’ensozi za Isirayiri we zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu ddundiro eddungi era gye ziririira omuddo omugimu ku nsozi za Isirayiri. 15 (J)Nze kennyini ndirabirira endiga zange, ne nzigalamiza wansi mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda. 16 (K)Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba. Ndigyanjaba ezaalumizibwa, ne ŋŋumya ennafu, naye ensava era ez’amaanyi ndizizikiriza. Ndirunda ekisibo mu bwenkanya.
17 (L)“ ‘Nammwe ekisibo kyange, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndisala omusango wakati w’endiga emu ne ginnaayo ne wakati w’endiga ennume n’embuzi. 18 Tekibamala okulya omuddo? Kale ate lwaki mulinnyirira ogusigaddewo mu ddundiro, nga n’okunywa mwanywa amazzi amayonjo, naye ne musiikuula agaasigalawo n’ebigere byammwe! 19 Olwo endiga zange zirye bye mwalinnyirira n’okunywa zinywe amazzi ge mwasiikuula n’ebigere byammwe?
20 “ ‘Mukama Katonda kyava abagamba nti, Laba, nze kennyini ndisala omusango wakati w’endiga ensava n’endiga enkovvu. 21 (M)Kubanga mwewaana nga muyimusa ebifuba ne musindikiriza ennafu zonna ne muzitomera n’amayembe gammwe okutuusa lwe muzifulumya ebweru, 22 (N)ndiwonyawo ekisibo kyange so teziriba nate muyiggo. Ndisala omusango mu bwenkanya wakati w’endiga n’endiga. 23 (O)Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe. 24 (P)Nze Mukama ndiba Katonda waabwe, n’omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo. Nze Mukama njogedde.
25 (Q)“ ‘Ndikola endagaano yange ezisuubiza emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, zibeerenga mu ddungu era zeebakenga mu bibira mirembe nga tezirumbibwa. 26 (R)Ndiziwa omukisa wamu n’ebifo ebyetoolodde akasozi kange, era ndibatonnyeseza enkuba mu ntuuko yaayo; walibaawo enkuba ey’omukisa. 27 (S)Emiti egy’omu ttale girireeta ebibala byagyo, n’ettaka lirimeza ebimera byalyo, era n’abantu balituula mirembe mu nsi yaabwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimenya ebisiba eby’ekikoligo kyabwe ne mbawonya mu mukono gwabwo abaabafuula abaddu. 28 (T)Teziriba munyago nate eri amawanga, so n’ensolo enkambwe tezirizitaagulataagula. Zirituula mirembe so tewaliba muntu n’omu azitiisatiisa. 29 (U)Ndiziwa ensi emanyiddwa olw’ebirime byayo, zireme okulumwa enjala nate mu nsi newaakubadde okunyoomebwa amawanga. 30 (V)Era zirimanya nga nze Mukama Katonda waazo, ndi wamu nazo, era nga zo, ennyumba ya Isirayiri, bantu bange, bw’ayogera Mukama Katonda. 31 (W)Mmwe ndiga zange, endiga ez’eddundiro lyange, muli bantu bange, era nze ndi Katonda wammwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.
83 (A)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
2 (B)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
3 (C)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
4 (D)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
5 (E)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
beegasse wamu bakulwanyise.
6 (F)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
7 (G)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
8 (H)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
okuyamba bazzukulu ba Lutti.
9 (I)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[a] ku mugga Kisoni,
10 (J)abaazikiririra mu Endoli
ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (K)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[b]
n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (L)abaagamba nti, “Ka tutwale
amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”
13 (M)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 (N)Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 (O)naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 (P)Baswaze nnyo,
balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.
17 (Q)Bajjule ensonyi n’okutya,
bazikirire nga baswadde nnyo.
18 (R)Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA,
gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
84 (S)Eweema zo nga nnungi,
Ayi Mukama ow’Eggye!
2 (T)Omwoyo gwange guyaayaana,
gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
3 (U)Weewaawo,
ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4 Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
banaakutenderezanga.
5 (V)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
6 (W)Bayita mu kiwonvu Baka,
ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
7 (X)Bagenda beeyongera amaanyi,
okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8 Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
9 (Y)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
10 (Z)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (AA)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
12 (AB)Ayi Mukama ow’Eggye
alina omukisa omuntu akwesiga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.