Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 14

Akiya Alagula Yerobowaamu

14 Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n’alwala, (A)Yerobowaamu n’agamba mukyala we nti, “Golokoka ogende e Siiro, nga weefuddefudde baleme kumanya nga bw’oli mukazi wa Yerobowaamu. Akiya nnabbi, eyanjogerako nti ndiba kabaka w’abantu bano ali eyo. (B)Twala emigaati kkumi, ne bukeeke, n’ensumbi ey’omubisi gw’enjuki, ogende gy’ali era ye alikubuulira omwana bw’aliba.” Awo muka Yerobowaamu n’akola bw’atyo, n’agenda ewa Akiya e Siiro.

Akiya yali muzibe, kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw’obukadde. Naye Mukama yali alabudde Akiya nga muka Yerobowaamu bw’anajja okumubuuza ebifa ku mutabani waabwe, eyali alwadde era nga bw’ajja okumuddamu, nga bw’anaatuuka ajja kwefuula okuba omuntu omulala.

Awo Akiya bwe yawulira enswagiro ku mulyango, n’amugamba nti, “Yingira muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula okuba omuntu omulala? Ntumiddwa gy’oli n’amawulire amabi. (C)Genda ogambe Yerobowaamu nti kino Mukama, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri. (D)Naggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ng’omuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era n’abigoberera n’omutima gwe gwonna, ng’akola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange. (E)Oyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, n’okola n’ebifaananyi ebisaanuuse n’onneerabira; onsunguwazizza nnyo.

10 (F)“ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ng’omuntu bw’ayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala. 11 (G)Abo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirirya egy’abo abalifiira ku ttale, kubanga Mukama y’akyogedde!’

12 “Wabula ggwe, ddayo eka. Bw’onooba wakalinnya ekigere mu kibuga kyo, omulenzi anaafa. 13 (H)Isirayiri yonna banaamukaabira era ne bamuziika. Ye yekka ow’ennyumba ya Yerobowaamu aliziikibwa, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowaamu Mukama Katonda wa Isirayiri, gw’alabyemu akalungi.

14 Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isirayiri alisaanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu mu kiseera ekitali ky’ewala nnyo. 15 (I)Mukama aliva ku Isirayiri, abeere ng’ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, n’abasaasaanyiza emitala w’Omugga,[a] kubanga baasunguwaza Mukama bwe baakola bakatonda Baaseri. 16 (J)Era aliva ku Isirayiri olw’ebibi bya Yerobowaamu n’ebyo by’ayonoonesezza Isirayiri.”

17 (K)Awo muka Yerobowaamu n’agolokoka okugenda e Tiruza. Olwayingira mu nnyumba yaabwe, omulenzi n’afa. 18 Ne bamuziika, era Isirayiri yonna ne bamukungubagira ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu nnabbi Akiya bwe kyali.

19 N’ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu, entalo ze, n’okufuga kwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 20 Yafugira emyaka amakumi abiri mu ebiri, oluvannyuma ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Nadabu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Lekobowaamu Kabaka wa Yuda

21 (L)Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n’alya obwakabaka bwa Yuda, ng’alina emyaka amakumi ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri olw’erinnya lye. Nnyina yayitibwanga Naama, Omwamoni.

22 (M)Yuda ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, okusinga ne bajjajjaabwe bye baakola era ebibi byabwe ne bikwasa Mukama obuggya. 23 (N)Beezimbira ebifo ebigulumivu n’empagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi. 24 (O)Era waaliwo n’abaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga eby’emizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri bye baakolanga.

25 (P)Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi. 26 (Q)N’atwala eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’ebyobugagga eby’omu lubiri lwa kabaka byonna, ng’okwo kw’otadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 27 Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ebikomo okuzzaawo ziri, era n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki w’olubiri lwa kabaka. 28 Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abambowa we zaaterekebwanga.

29 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omulembe gwa Lekobowaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 30 (R)Waabangawo entalo ez’olubeerera wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 31 (S)Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Nnyina yayitibwanga Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Abakkolosaayi 1

Okwebaza n’okusaba

(A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, wamu ne Timoseewo owooluganda, (B)tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo ab’e Kkolosaayi, nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.

(C)Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. (D)Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu, (E)olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri. (F)Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ng’ebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe. (G)Epafula muddu munnaffe omwagalwa omuweereza wa Kristo omwesigwa gye muli, eyabatuusaako Enjiri eyo, (H)ye yatubuulira okwagala kwe mulina mu Mwoyo.

(I)Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo. 10 (J)Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda. 11 (K)Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, 12 (L)nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. 13 (M)Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14 atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

Obulamu bwa Kristo

15 (N)Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. 16 (O)Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. 17 (P)Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa. 18 (Q)Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna. 19 (R)Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye, 20 (S)era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.

21 (T)Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe n’ebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ng’abakyawa Katonda. 22 Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa. 23 Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

Okufuba kwa Pawulo ku lw’Ekkanisa

24 (U)Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa. 25 (V)Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza w’Ekkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu. 26 (W)Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be. 27 (X)Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.

28 (Y)Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo. 29 (Z)Kyenva ntegana nga nfuba nga nkozesa obuyinza Katonda bw’ampa obw’amaanyi.

Ezeekyeri 44

Omulangira, Abaleevi Ne Bakabona

44 (A)Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogw’ebweru ogw’Awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; gwali muggale. (B)Mukama n’aŋŋamba nti, “Omulyango guno gwa kusigalanga nga muggale. Teguteekwa kugulwanga newaakubadde omuntu yenna okuguyitangamu. Gwa kusigalanga nga muggale kubanga Mukama, Katonda wa Isirayiri yaguyitamu. (C)Omulangira yennyini, ye yekka anaatulanga mu mulyango n’aliira mu maaso ga Mukama, era nnaayingiranga ng’ayita mu kkubo ery’ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo eryo mw’anaafulumiranga.”

(D)Awo omusajja n’ankulembera ne tuyita mu kkubo ery’omulyango ogw’Obukiikakkono n’antwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde yeekaalu ya Mukama, ne nvuunama.

(E)Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula weetegereze, owulirize bulungi era osseeyo omwoyo eri buli kye n’akugamba ku biragiro ebikwata ku nzirukanya ya yeekaalu ya Mukama. Tunula weetegereze bulungi awayingirirwa mu yeekaalu n’awafulumirwa wonna aw’Awatukuvu. (F)Tegeeza ennyumba ya Isirayiri enjeemu nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; ebikolwa byammwe eby’emizizo bikome, mmwe ennyumba ya Isirayiri.’ (G)Ate n’okwogera ku ebyo ebikolwa byammwe eby’emizizo byonna, mukkiriza bannaggwanga, abatali bakomole mu mutima newaakubadde omubiri okuyingira Awatukuvu wange, ne boonoona eyeekaalu yange nga mmwe bwe mumpeerayo emmere, amasavu n’omusaayi ne mumenya endagaano yange. (H)Mu kifo eky’okukola ebibagwanira ng’ebintu byange ebitukuvu bwe biri, abalala bannaggwanga be mwakwasa okuvunaanyizibwa empya zange. (I)Kale Mukama Katonda kyava ayogera nti, Tewaliba munnaggwanga n’omu atali mukomole mu mutima newaakubadde omubiri aliyingira mu Watukuvu wange, newaakubadde bannaggwanga ababeera mu Bayisirayiri wakati.

10 (J)“ ‘Naye Abaleevi abanvaako, Isirayiri bwe yakyama, ne bagoberera bakatonda abalala, balibonerezebwa. 11 (K)Baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ng’omwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga. 12 (L)Naye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olw’ekibi kyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda. 13 (M)Tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona newaakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba ebiweebwayo byange ebitukuvu ennyo; kubanga baakola ebiswaza n’eby’ekivve. 14 (N)Naye ndibalonda okuvunaanyizibwa emirimu gya yeekaalu, n’eby’okukola byonna ebiteekwa okukolebwa mu yo.

15 (O)“ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda. 16 (P)Abo bokka be banaayingiranga mu watukuvu wange, era be banaasemberanga okumpi n’emmeeza yange okumpeerezanga, n’okukuumanga ebyo bye mbalagira.

17 (Q)“ ‘Bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda banaayambalanga ebyambalo ebya linena; tebateekwa kwambalanga byambalo bya byoya by’endiga, nga baweerereza mu miryango egy’oluggya olw’omunda ne munda wa yeekaalu. 18 (R)Baneesibanga ebitambala ku mutwe nga bya linena, n’engoye ez’omunda nga za linena. Tebateekwa kwambalanga kintu n’ekimu ekibatuuyanya. 19 (S)Bwe banaabanga bafuluma nga balaga mu luggya olw’ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebyatukuzibwa, ne bambala engoye endala balemenga okutukuza abantu n’ebyambalo byabwe.

20 (T)“ ‘Tebateekwa kumwa mitwe gyabwe newaakubadde okuleka enviiri zaabwe okukula ennyo, naye banaazisalangako ne zisigala nga nto. 21 (U)Tewabanga kabona n’omu anywa nvinnyo ng’ayingidde mu luggya olw’omunda. 22 (V)Tebateekeddwa kuwasa bannamwandu newaakubadde eyanoba, naye banaawasanga abawala embeerera nga ba lulyo lwa Isirayiri oba nga bannamwandu ba bakabona. 23 (W)Banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati w’ekitukuvu n’ekitali kitukuvu, era nga babalaga enjawulo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu.

24 (X)“ ‘Bwe wanaabangawo enkaayana, bakabona be banaabanga abalamuzi, okusalawo ng’ebiragiro byange bwe biri. Banaakumanga amateeka gange n’ebiragiro byange ku mbaga zange zonna ezaalagirwa, era banaakumanga Ssabbiiti zange nga ntukuvu.

25 (Y)“ ‘Kabona taasembererenga mulambo aleme okweyonoonyesa, naye kitaawe bw’anaabanga y’afudde, oba nnyina, oba mutabani we oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina atafumbirwangako, kale aneeyonoonesanga. 26 (Z)Oluvannyuma olw’okwetukuza, anaalindanga ennaku musanvu ziyite. 27 Awo ku lunaku lw’anaalaganga mu luggya olw’omunda olwa watukuvu okuweereza mu watukuvu, aneweerangayo ekiweebwayo olw’ekibi, bw’ayogera Mukama Katonda.

28 (AA)“ ‘Nze nnaabanga omugabo gwa bakabona. Temuubawenga mugabo na gumu mu Isirayiri; nze mugabo gwabwe. 29 (AB)Banaalyanga ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, ne buli kintu mu Isirayiri ekiwonge eri Mukama kinaabanga kyabwe. 30 (AC)Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka ebya buli kika n’ebirabo byonna eby’omuwendo binaabanga bya bakabona. Munaabawanga obutta bwammwe obwasooka okugoyebwa, omukisa gubeerenga ku nnyumba zammwe. 31 (AD)Bakabona tebaalyenga kintu na kimu, oba nnyonyi oba nsolo, ebisangiddwa nga bifu olumbe lwabyo nga byataagulwa nsolo.

Zabbuli 97-98

97 (A)Mukama afuga; ensi esanyuke,
    n’embalama eziri ewala zijaguze.
(B)Ebire n’ekizikiza bimwetooloola;
    obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
(C)Omuliro gumukulembera
    ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
(D)Okumyansa kwe kumulisa ensi;
    ensi n’ekulaba n’ekankana.
(E)Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,
    mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
(F)Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe;
    n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.

(G)Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,
    abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.
    Mumusinze mwe mwenna bakatonda.

(H)Sayuuni akiwulira n’asanyuka,
    n’ebyalo bya Yuda bijaguza;
    kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
(I)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;
    ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 (J)Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
    akuuma obulamu bw’abamwesiga,
    n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 (K)Omusana gwe gwakira abatuukirivu,
    n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 (L)Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,
    era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.

Zabbuli.

98 (M)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
    era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
(N)Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
    era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
(O)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
    n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
    obulokozi bwa Katonda waffe.

(P)Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna;
    muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
(Q)Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba;
    n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
(R)n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.
    Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.

(S)Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,
    n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
(T)Emigga gikube mu ngalo
    n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
(U)byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,
    kubanga ajja okulamula ensi.
Aliramula ensi mu butuukirivu;
    aliramula amawanga mu bwenkanya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.